Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government esseewo empuliziganya ematiza wakati waayo n’abantu abakulemberwa, kigiyambeko okumanya amangu ebibasomooza n’engeri y’okubisalira amagezi.
Katikkiro abadde asisinkanye omubaka wa president mu Kampala Aminah Nanziri Lukanga mu Bulange e Mengo.
Agambye nti ebizibu bya Buganda mu Kampala bisinga kwetoloolera ku ttaka, olwa bannakigwanyizi okulibulankanya, naye naalabula nti abalibulankanya ligenda kubagibwako essaawa yonna.
Katikkiro asabye Abakuuma Ddembe okukomya okwezza ettaka ly’abantu nga berimbise mu linnya lya government, kyagambye nti kyonoonye nnyo ekifaananyi kya government.
Omubaka wa president mu Kampala Aminah Nanziri Lukanga yeeyamye ku lwa banne, okukolagana obulungi n’Obwakabaka bwa Buganda naddala mu kulambika abavubuka mu by’enkulakulana.
Minister w’ebyobuwangwa ,ennono, amasiro n’ebyokwerinda Owek David Kyewalabye Male, agambye nti ebitundu bingi omuli ettaka ly’Obwakabaka liwambiddwa abaserikale mu bitongole by’Okwerinda ebitali bimu, bazimbyeko amayumba, nebazi𝝶amya enteekateeka z’obwakabaka.
Omubaka wa president mu Kampala wamu n’ababaka abalala omuli Anderson Burora atwala Lubaga , baguze emijoozi gy’amazaalibwa ga Beene egyomwaka guno 50.