Bya Kato Denis
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannayuganda okwewalira ddala obusosoze n’Okwawula mu bantu ebyongedde okumaamira eggwanga lino,lisobole okutuuka ku nkulaakulana eyeetagisa.
Katikkiro abyogeredde mu lutikko y’essaza lye Mbarara esaangibwa e Nyamitanga,mu missa ey’okunyenya matabi.
Agambye nti enjawukana mu mawanga tesaanye kuba muziziko mu nkulaakulana ya Uganda n’Omukwano mu bantu.
Omusumba w’essaza ekkulu erye Mbarara Lambert Bainomugisha yayimbye missa eno, n’asaba abantu okukomya okwegulumiza mu buli bifo byanjawulo mwebaweerereza.
Mu ngeri eyenjawulo asabye abakkiriza obutaterebuka olwokusomooza kwebasanga mu buweereza bwabwe eri omukama.
Bishop Lambert annyonyodde amakulu agali mu lunaku luno olw’okunyeenya matabi,nga lwe Lunaku Yesu kristo lweyayingira e Yerusalemu mu mizira.
Era ng’olunaku luno lwali lwakumuteekateeka okuyingira ekiseera ekizibu kyeyali ayolekedde ekimanyiddwa nga wiiki entukuvu,omwali okubonabona,okuttibwa n’okuzuukirakwe olw omwana w’omuntu asobole okusonyiyibwa ebibi.
Owek Hajji Mutaasa Kafeero omukiise mu lukiiko lwa Buganda atwala ekitundu kye Mbarara, yebazizza Katikkiro olw’okukunga bannansi bonna okulemera ku kirime ky’emmwanyi.
Hajji Mutaasa ategezezza Katikkiro nti abaganda ababeera mu Ankole balina enyonta ey’Okulaba ku Beene.
Katikkiro asoose kulambula bbanguliro ly’abalunzi b’ensolo ezenjawulo erya Rubyerwa Dairy Investments Limited, ku kyalo Rwanyamahembe mu ssaza lya Kashaari south mu district ye Mbarara.
Omu ku bakulira ebbanguliro lino Paul Nyakairu Kamuntu asabye Katikkiro ayongere okukubiriza abantu obutemalira mu bibuga nebasuulawo ebyalo,nti bakola kikyaamu,kwekubasaba bakuume ettaka nga balikolerako ebintu omuva ensimbi.
Katikkiro eno gyavudde n’alyoka agenda okusaba mu Lutikko ye Nyamitanga.
Katikkiro Mayiga era akyaddeko ne ku Hotel Triangle mu Kibuga Mbarara,n’abebaza olw’omutindo gw’emirimu gyebakola.
Eno gyasinzidde n’asoomooza abatandisi b’emirimu abalowooleza mu kufuna amagoba gokka, nebatafa ku mpeereza nnungi,nti bazza eby’emirimu emabega naddala eby’obulambuzi.