Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga anenyezza abafeebya Obuwangwa n’ennono za Buganda,nebasalawo okukola ebyabwe nga bwebaagala.
Katikkiro awadde eky’okulabirako eky’abantu abaabizaawo ennyimbe nga bakava e magombe, nti kiba kikyamu kubanga waliwo obulombolombo bungi obubeera bulekeddwa ebbali, omuli okufulumya olumbe n’obulala bungi.
Katikkiro abadde ku kyalo Bulando ekisangibwa mu gombolola Mukungwe Masaka Buddu, mu kwabya olumbe lw’Omugenzi Leokadia Namazzi Tezijjadda maama w’Omusumba w’essaza lya klezia erye Masaka Bishop Siriverus Jumba.
Nassuuna Leticia Florence y’asikidde omugenzi.
Owek Mayiga ku mukolo gwe gumu asabye abantu mu Buganda ne Uganda yonna balekeraawo okwogera ku ndagaano y’emmwanyi eyakoleddwa wakati wa government eya wakati ne kampuni ya Vinci coffee company ltd.
Katikkiro agambye nti ebyogeddwa n’okuwabula government bimala, bbo bantu basigale nga basimba emmwanyi zabwe, balinde makungula.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere yakulembeddemu ekitambiro kya mmisa.
Avumiridde enkola y’abazadde abategekedde abaana eby’obugagga, nebatabateekateeka kwekolerera, mungeri yeemu naalabula abazadde abataagala kuzaala nga bekwasa obusongasonga omutali.
Omusumba we Masaka Bishop Siriverus Jumba mu bubakabwe yebazizza abantu ba Katonda abamukwatiddeko n’Okumuwa obuwagizi obwenjawulo mu buli kyakola,ekintu ekimwongedde amaanyi.
Omutaka Mugema Nsejjere jajja.w’akasolya k’ekika ky’Enkima naye akuutidde bazzukulube obutawugulwa Buwangwa bwa bazungu, nti basigale ku nnono za Buganda.
Akulira oludda oluvuganya government Owek Mathius Mpuuga Nsamba yakiikiriddwa omubaka omukyaala owa Masaka City Juliet Kakande , alabudde bannayuganda ku mbeera embi ennyo gyebagenda okuyitamu ssinga bagayaalirira ekirime ky’Emwaanyi, mungeri eyenjawulo neyeebaza Obwakabaka olwa kaweefube gwebutadde mu kuzzaawo emmwanyi.
Susan Nsambu Nakawuki nga yemukiise mu lukiiko lw’amawanga g’Obuvanjuba bwa Africa nga yakiikiridde ssabaminister Robinah Nabbanja kulwa government eyawakati, naye akunzr abantu obutava ku kulima mmwanyi.
Omwami w’essaza Budu Pokino Jude Muleke alabudde ababaka mu lukiiko lw’eggwanga aboolesezza obulagajjavu mu kulwanirira ebiruma abantu bq bulijjo,omuli ekitulugunya Bantu, n’amateeka ssaako n’endagaano ezitaliimu mulamwa ezissibwako emikono nga ababaka batunula butunuzi.
Castral Lukwago nga ye mukulu w’enyumba Omusumba Sereverus Jjumba mwava, yebazizza Katonda olw’ekirabo ky’abaana abaweereza Katonda ne munsi eno nga bakkakkamu.
Omukolo guno gwetabiddwaako katikkiro wa Buganda eyawummula Owek Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ,abaami b’amasaza mu Buganda, ababaka ba parliament, ba minister mu gavumenti eyaawakati neeya Beene, Bajjajja abataka aboobusolya n’abantu abalala bangi.