Katikkiro Charles Peter Mayiga, asisinkanye abamu ku bakulu abaddukanya ekitongole ki Bill and Melinda Gates Foundation, ku kitebe ekikulu mu kibuga Seattle eky’America.
Ekitongole kino kiyamba abantu mu ngeri ezitali zimu mu byobulamu, ebyobulimi, n’ebirala eby’enkulaakulana.
Ensisinkano ne Katikkiro ebaddemu Ssenkulu w’ekitongole Mark Suzman, Paulin Basinga akulira ebyemirimu mu Africa, n’Omulangira Samuel Kateregga Ssenyimba omwana wa Nambi, nga y’akulira ebyobulimi mu kitongole kino.
Bawayizzaamu ku nsonga ez’enjawulo, naddala ezeekuusa ku nkolagana n’Obwakabaka mu nteekateeka ez’enjawulo eziyamba abantu.
Katikkiro awerekeddwako Owek. Joseph Kawuki, omwami wa Kabaka e Seattle Owek. Moses Mayanja Ggayi Lule, David Ntege, ne Allen Namukasa Kafuluma.#