Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga abangudde abasaakaate ku ngeri gyebasobola okwerabirira nebafuuka abantu ab’omugaso.
Ekisaakaate kya Nnabagereka kiri ku ssomero lya Muzza High School Kabembe Mukono.
Katikkiro alabudde abavubuka okwewala ebiragalalagala, ettamiiro n’Obugagga obutaliu butuuyanire,byagambye nti yekanaaluzaala w’okuzza emisango gya naggomola.
Katikkiro agambye nti okukozesa ebiragala omuli enjaga n’Okunuusa amafuta kuviiriddeko abavubuka bangi okufuna endwadde, okufiira mu bubenje , era gyebiggweeredde nga bangi batwaliddwa mu bifo eby’abakugu mu kubudaabuda abantu, kyokka ng’ebifo bino bya bbeeyi ebitagambika.
Katikkiro mungeri yeemu alabudde bannabitone naddalal abayimbi, abasambi b’Omupiira ne bannakatemba okukomya okukukozesa ebiragala, nti kuba kino kikendeeza amaanyi mu mibiri okumala ekiseera.
Nnaabagunjuzi w’Ekisakaate Joanitha Kawalya alambuludde ku bimu ku bisomeseddwa Abasakaate, era nategeeza nti bafunye enjawulo yamaanyi okusinga ku bwebaagenda.#