Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye government eyawakati okussaawo omutemwa ogwetengeredde ku nteekateeka y’okumaliriza obulungi omulimu gw’Amasiro ge Kasubi okugatuusa ku mutindo ogwetaagisa nókugalabirira buli mwaka.
Katikkiro era ajjukiza abakulira ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala, okuyisa ekiteeso kyókufuula amasiro gé Kasubi akabonero ka Kampala okwongera okugamanyisa abantu nókugatunda munsi yonna.
Katikkiro abadde mu lukiiko lwa Buganda olwa 31 mu lutuula lwalwo olwokusatu mwayanjulidde enteekateeka ezaayitiddwamu okulaba ngámasiro ge Kasubi ekitongole kya UNESCO kigaggya ku bifo ebyenkizo ebiri mu katyabaga.
Olutuula luno lukubiriziddwa amyuka sipiika wa parliament Owek.Ahmed Lwasa.
Katikkiro annyonyodde nti amasiro gaakasaasaanyizibwako obuwumbi bwa shs obusoba mu 10.
Government ya Uganda yakawaayo obuwumbi bwa shs 2, eya Japan obuwumbi 2, eya Norway obukadde buli mu 300 saako ne World Heritage Fund eyawaayo obukadde nayo buli mu 300.
Katikkiro agambye nti ettunduttundu lyénsimbi erisinga obunene kukuzaawo amasiro ziweereddwayo bantu ba Buganda néggwanika.
Amasiro gé Kasubi gaagyiddwa ku bifo eby’enkizo ebiri mu katyabaga mu lukungaana lwékibiina kya UNESCO olwatudde mu kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia.
Amasiro bwegaalangirirwa mu Riyadh nti gagyiddwa mu lukalala lwébifo ebyenkizo ebiri mu katyabaga, abakiise bonna baatusanyukirako nnyo. Era mu lukiiko lwonna Obwakabaka bwa Buganda ne Uganda byebyasiinga okuvuga ennyo, kubanga gano amasiro ga nsi yonna. Awo wensabira government eteeke omutemwa gwénsimbi mu mbalirira yéggwanga ezókulabirira amasiro” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro agambye nti wakyaliwo enteekateeka nnyingi ezikoleddwa okutuusa amasiro ge Kasubi ku mutindo ogwetaagisa oguweesa Obwakabaka ekitiibwa ne Uganda okutwalira awamu, saako okusikiriza abalambuzi okuva mu nsi yonna.
Mu nteekateeka zino mulimu okusaawo amakubo omunavaanga ebintu ebirabirira amasiro omuli essubi, obukeedo, nébirala, okuyoyoota oluggya lwámasiro nga mussibwamu amayinja agafaanannaira ddala Ssekabaka Mutesa I geyalekawo, okuyooyoota ennyumba zonna ezisaangibwa mu masiro, okulabirira obulungi abazaana abagalabirira, okuzimbamu kabuyonjo ez’omulembe nébintu ebirala bingi.
Mu lukiiko lwe lumu Katikkiro alambuludde ku bugenyi bwa Nnaabagereka Sylivia Nagginda mu maka ga president e Ntebbe, gyeyasisinkanidde President Yoweri Kaguta Museven okumunnyonyola ku nteekateeka gyebalina ey’okutongoza enkola yóbuntu Bulamu mu Buganda nébitundu bya Uganda ebirala.
Katikkiro agambye nti Nnaabagereka yawerekeddwako minister wébyóbulamu, ebyenjigiriza ne wofiisi ya Nnabagereka Owek. Cotilda Nakate nábakungu okuva mu kitongole kya Nnaabagereka Development Foundation ne United Nations Development Program (UNDP) abawomye omutwe mu nteekateeka eno.
Mu ngeri eyenjawulo Katikkiro alabudde ku busiwuufu bwémpisa obutandise okweyolekera mu mpaka zémipiira gyámasaza ga Buganda, násaba minister wémizannyo, abavubuka, ebitone Owek. Robert Sserwanga nábaami b’amasaza okusalira ekizibu kino amagezi.