Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, ajaguzza emyaka 97 egy’obukuli, egy’obusossolodooti 66, n’egyobwa Kalidinaali 29, wakati mu kutendereza omutonzi okumuwa obulamu n’okumuwangaaza.
Omutiibwa Kalidinaali Emmanuel Wamala, asinzidde mu makage e Nsambya, ku mukolo egy’olunaku lw’aboluganda n’abazzukulu ba Kalidinaali olukuzibwa buli nga 27 December buli mwak.
Kalidinaali Emmanuel Wamala asiimye banna Uganda abenjawulo abamulabiridde obulungi mu ngeri ez’enjawulo mukiseera kino eky’obukadde.
“Nsiima mwenna abawaniridde obulamu bwange obw’omwoyo n’omubiri. Era njagala okubategeeza nti nsiima nnyo” – Kalidinaali Wamala
Ssentebe w’abazzukulu ba Kalidinaali Emmanuel Wamala, nga ye minister w’ebyenjigiriza n’emizannyo avunanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Dr JC Muyingo, asabye abazzukulu okusigala nga bakuza olunaku luno, banyweze obumu n’okwagala nga bayambagana mu bizibu ebyenjawulo.
Emikolo gino gitandise n’ekitambiro kya Missa ekulembeddwamu Rev. Dr.Wasswa Bonaventure Ssebyanzi okuva mu kigo kye Mulago era ono asabye abakkiriza okwongera okwenywereza mu kukkiriza.
Bisakiddwa: Ddungu Davis