Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye enteekateeka y’okulwanyisa mukenenya yeyongereyo emyaka emirala esatu egy’omuddiringanwa.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yayanjudde obubaka buno, bw’abadde atongozza olukiiko olunaakola ku nteekateeka z’emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka egy’omwaka guno 2023, nga lukulemberwa owek. David Mpanga minisita ow’emirimu egy’enkizo mu Buganda.
Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno (Kabaka birthday run 2023) gyakuddukibwa nga 16 Kafuumuulampawu (April), ga ne ku mulundi guno emisinde gisimbye ku mulamwa gw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Bwabadde atongoza olukiiko luno mu Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu ba Kabaka okunyiikira okulwanyisa mukenenya, omwaka gwa 2030 wegunaatuukira ng’afuuse lufumo.
Muno mulimu okwekebeza mukenenya abazuulwa n’obulwadde batandike ku ddagala nga bukyali ate bewale okusiiga abalala, ate abazuulwa nga tebalina bekuume obutakwatibwa.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ng’omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lw’amazaalibwa ga Kabaka age 68, yeeyamye okukola omulimu omulungi ogunaggyayo ekigendererwa kya Ssaabasajja.
Omujoozi gw’okuddukiramu (Kit) gwakugulwa ensimbi emitwalo ebiri (20,000/-).
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima akwate omumuli gw’okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya ku ssemazinga Africa, okuyambako ku kitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekirwanyisa siriimu munsi yonna ekya UNAIDS.
Ssenkulu wa kkampuni y’essimu eya Airtel abavujjirizi abakulu ab’emisinde gino, Manoj yeeyanzizza Ssaabasajja okusiima nebamuweereza mu ngeri eno gyagambye nti nabo ebayambye okutumbula omukutu gwabwe mu Uganda.
Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk. Remmy Kisaakye agambye nti omukago Obwakabaka gwebwatta ne Airtel guvuddemu ebibala ebirabwako n’asuubiza okugukuuma.
Omwaka guno gugenda kuweza omulundi ogw’ekkumi, ng’Obwakabaka butegeka emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja gyeyasiima giveemu ensimbi ezirwanyisa obulwadde obwenjawulo mu Buganda ne Uganda yonna okutwalira awamu.
Okuva lwegyatandika emyaka 9 egiyise, gizze gyesigama ku kulwanyisa endwadde omuli Fistula (Ekikulukuto,) Sickle cells (Nnalubiri) ne mukenenya.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen