Ng’obuganda Bujaguza okuweza emyaka 30 nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ali ku Namulodo ya Bajajja be, abaaliko abakubiriza b’olukiiko n’abamyuka babwe benyumiriza mu myaka 30, bingi ebituukiddwako okuyita mu lukiiko olukulu olwabuganda .
Ssaabasajja Kabaka yatuuzibwa ku Nnamulondo nga 31 July,1993 e Naggalabi Buddo, mu ssaza lye Busiro.
Olukiiko lwa Buganda olwasooka ku mulembe omutebi lwayitibwanga Ssaabataka Supreme Ckuncil mu 1992, olwabaganga ensonga z’okuzaawo Obwakabaka.
Olukiiko olwo lwakubirizibwanga Owek Joseph Patrick Musoke, lwatuulako Owek. J.W Katende, Owek.Charles Peter Mayiga, Owek. Joseph Mulwannyammuli, Owek.J.B Walusimbi.
Mu mwaka gwa 1993 nga Ssaabasajja ng’amaze okutuula ku Nnamulondo, olukiiko olwo lwafuuka olukiiko lwa Ssabasajja, era abakiise baavaanga mu bika bya Buganda.
Ssaabasajja Kabaka ng’amaze okutuula ku Nnamulondo yasiima mu mwaka gwa 1995, Olukiiko lwa Ssabasajja nerutuumwa olukiiko lwa Buganda .
Olukiiko lwatulanga mu bifo ebyenjawulo okwali Wofiisi z’Owek J.W Katende ku Dustur street mu Kampala, ewa Gordon Wavamunno ku spearhouse ne Owek Ezekiel Rabai Mulondo, okutuusa Ssaabasajja Kabaka bweyasiima olukiiko luno ne Lutandiika okutuula ku mbuga enkulu eyobwa Kabaka e Mengo, oluvannyuma lwa government okukomyawo Bulange mu mikono gy’obwakabaka.
Ssaabasajja Kabaka okuva olwo yasiima okuggulangawo olukiiko luno buli mwaka .
Owek John Patrick Musoke (omugenzi) yeyasooka okulukubiriza, Oweek Aloysius Darlington Lubowa (mugenzi),Shaikh Ali Kulumba (mugenzi) ,Haji Suleiman Kaddunabbi (mugenzi),Haji Musa Sserunkuuma ,Habib Ssemakalu (mugenzi),Owek Rotarian Nelson Kawalya ne Owek Patrick Luwaga Mugumbule aliko kati.
Olukiiko lwa Buganda lulimu abakiise 198.
Owek Rotarian Nelson Kawalya eyaliko omukubiriza w’olukiiko agamba nti mu myaka gino 30, olukiiko lwassa essira kukuzaawo amasaza ga Buganda, okuggumiza ebika, okwekulaakulanya,n’okwongera okunyweza Nnamulondo .
Omukubiriza w’olukiko lwa Buganda mu kiseera kino Owek Patrick Luwaga Mugumbule agamba nti ebintu binji bitukiddwako, neyeyanza Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okubalungamya nga ku ngeri yokutambuzamu olukiiko mu myaka gino 30.
Owek Patrick Luwaga Mugumbule agamba nti mu myaka 30 Ssabasajja Kabaka yasiima okwenyigira mukugatta abantu be, ne mukuleeta emirembe mu ggwanga Uganda.
Mu ngeri yeemu, mu myaka gino 30 olukiiko lwongedde okufuna ettutumu, n’okukozesa technology, nga kati abakiise basobola n’okuteeseza ku mutimbagano nga bayita mu nkola eya ZOOM, n’abali mu mawanga ag’enjawulo nebalwetabamu butereevu.
Ggundagunda ayi Beene!
Bikungaanyiziddwa: Nakato Janefer