Abaami ba Ssabasajja Kabaka mu ssaza Busiro nga bakulembeddwamu Ssebwana n’abamyukabe wamu n’abamagombolola bonna bali mukeetereekerero okwaniriza Ssabasajja Kabaka eyasiimye okulambula essazalye lino ng’aweza emyaka 30 ng’ali ku Namulondo.
Omutanda Nnyininsi yatuula ku Nnamulondo nga 31 July,1993.
Ccuucu Lukomanantawetwa bw’anaaba alambula Busiro, wakutongoza ennyumba zazimbye ku mbuga y’e ssaza e Ssentema kulwokutaano nga 28 July,2023.
Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza agambye nti balina essanyu okwaniriza Nyinimu Ssalambwa Byomere, nga bajaguza emyaka 30 egy’amatikkira.
Ssebwana yebazizza omutanda olw’emirabo ky’amayumba gano geyasiima gazimbibwe mu Busiro, abantu br bagagule ku bbeeyi ensaamusaamu.
Ssebwana asabye abaami ba Kabaka bonna mu magombolola okukunga abantu okwaniriza Nnyininsi Sseggwanga, nga bazimba ebiyitirirwa kumakubo naddala ago agamuyingiza ku Ssaza e Ssentema.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe