Abantu ba Nnyininsi Ssaabasajja Kabaka beyiye mu bungi mu lubiri e Mengo wakati mu nkuba ekedde okutonnya, okwetaba mu misinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka 2024.
Abaddusi bonna okuli abadduse kilometre 21, 10 ne 5, basimbuddwa Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga.
Mu bubaka omuteregga bwatisse omumbejja Nnaalinnya Lubuga Agnes Nnabaloga, alagidde abantube abatawaanyizibwa akawuka ka Mukenenya babudaabudibwe era bafibweko ekimala, mungeri yeemu naalagira abatabulina babwewalire ddala.
Omuddusi omukulu Omulangira David Kintu Wasajja adduse kilometre 21.
Emisinde gino gitambulira ku mulamwa ogugamba nti abasajja tubeere basaale tulwanyise siriimu tutaase omwana Omuwala.
Omusinziira ku kitongole ky’ensi yonna ekirwanyisa siriimu ekya UNAIDS,buli lunaku abantu 142 bakwatibwa siriimu mu Uganda, ng’ebitundu 50% babeera bawala abali mu myaka emito.
Ababaka ba parliament bangi betabye mu misinde gino omuli akulira oludda oluvuganya government mu parliament Joel Ssenyonyi, Commissioner Mathias Mpuuga Nsamba, owa Kampala Shamim Malende n’abalala.