Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asimbudde abaddusi abetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge ag’emyaka 68.
Magulunnyondo asimbudde abadduse Kilo metre 21, 10 ne 5.
Omuteregga awerekeddwako Nabagereka Sylivia Nagginda.
Emitwalo n’emitwalo gy’abaddusi betabye mu misinde gino egiyindidde mu Lubiri e Mengo, so nga n’abalala baddukidde mu bitundu gyebabeera okwetoloola Uganda yonna, n’ebweru waayo.
Omulangira Kintu David Wasajja y’akulembeddemu abaddusi bonna, era ye adduse embiro ez’e km 21.