Obwakabaka bwa Buganda butongoza bboodi empya eya kkampuni y’essimu eya K2 Telecom ejjudde.
Omulangira Arthur Mawanda alondeddwa nga Ssenkulu waayo ate Omukungu Sekabembe William ye ssentebe wa bboodi eno.
Omulangira Arthur Mawanda azze mu bigere bya Omukungu Maria Kiwanuka Naabasirye agikulembedde okumala emyaka 7.
Ku bboodi eno kuliko bammemba okuli; Omuk Michael Kawooya Mwebe ng’omumyuka wa ssentebe, Omuk John Kitenda, Omulangira Kiweewa Jjunju, Omuk David Balaka, Omuk Robert Kasozi, Dr. Rose Nakasi, Dr. Kyanda Sulait Kaawaase n’abalala.
K2 Telecom yaakamala emyaka 11 mu nsiike y’ebyempuliziganya ng’eyambibwako Airtel Uganda.
Bwabadde atongoza bboodi eno mu Bulange e Mengo, Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abalondeddwa okukola ennyo ekitongole kino kituukane n’omulembe.
Katikkiro era abasabye okunyweza omukago gwa K2 ne Airtel Uganda esobole okuvuganya obulungi mu katale k’ebyempuliziganya by’essimu.
Katikkiro yeebazizza aba bboodi enkadde olw’omulimu amatendo gwebakoledde kampuni ya Kabaka.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akakasizza nti abalondeddwa bakutumbula K2 ejjudde, era nabakuutira okunyweza obukozi bwabwe.
Omukungu William Ssekabembe ku lwa banne yeeyanzizza Ssaabasajja olw’obuvunaanyizibwa bwabawadde nebeeyama okutumbula kampuni ye etuukane n’omulembe.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen