Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abakungu okuva mu Japan bwebegasse ku bwakabaka bwa Buganda okusaba ekitongole kya UNESCO okuggya amasiro ge Kasubi ku lukalala lwebifo ebiri mu katyabaga kokusanyizibwawo.
Katikkiro mu kaseera kano ali mu Kibuga Riyadh ekya Saudi Arabia mu lukungaana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku byenjigiriza n’obuwangwa (UNESCO) olwa World Heritage Centre olugenderedde okuteesa ku ngeri y’okukuuma n’okunnyiza omugaso gw’ebifo ebyobuwangwa ebyenkizo naddala ebiri mu Africa.
Katikkiro aliko ensonga ez’enkizo zagenda okwongera okunnyonyola abakungu ba UNESCO, ezirina okulowoozebwako nti ddala amasiro gasaanidde okuddizibwa ku lukalala lw’ebifo eby’ennono ebyenyumirizibwamu.
Omukiise wa Japan agambye nti Japan efaanananya Buganda mu nzimba ey’okuseresa essubi, era atogedde nti government yewaabwe yawagira omulimu gw’okuzzaawo Amasiro olw’obukulu bw’Amasiro eri Buganda, Uganda n’ensi yonna.
Japan yawa Buganda dollar za America 500,000US $ ezaakozesebwa okusiba ebyuma ebizikiriza omuliro e Kasubi
Omukungu Albert Kasozi ssenkulu wa Buganda Herritage and Tourism Board, ategeezezza nti amasiro wegatuuse gawedde atenga buli kya nnono kyakoleddwa songa n’obwerinde ku muliro bwassiddwako essira.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred