Olukiiiko lw’abattaka bajajja abakulu b’obusolya mu butongole babikidde Obuganda okubula kw’omutaka omukulu we kika kya kayozi omutaka Kafumu Emmanuel Ddamulira Ssebitaaba eyabuze mu ddwaliro e Nsambya.
Ow’embeera z’abattaka ku lukiiko lwa bajjaja abakulu bebika omuttaka Kidimbo Dr. Grace Kizito Bakyayiita era omukulu w’ekika ky’e Kyenkerebwe, ategezezza nti Omutaka Kafumu abadde atawanyizibwa obulwadde okumala akaseera obwamuviiraako okutwalibwa mu ddwaliro e Nsambya gyeyafiridde.
Entekateeka z’okutereka omutaka Kafumu za kutegezebwa abantu Obuganda.
Omutaka Kafumu Emmanuel Ddamulira akulembedde ekika okumala emyaka 44 okuva mu mwaka 1979.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius