Ministry y’ekikula ky’abantu esabye ensimbi obuwumbi 2 okuddaabiriza omukiziti omukulu ogwa Gaddaf National mosque ku Old Kampala, wakati mu kiseera nga guliko kaluma nyweeera olw’omugagga Justus Kyabahwa ayagala okugutunda okwesasula obuwumbi bwa shs obukunukkiriza mu 19 zaabanja Uganda muslim supreme council
Ensimbi ministry zeyagala ttundutgundu ku nsimbi trillion 3 n’ekitundu,ministry yeby’ensimbi zeyatutte mu parliament, ng’eyagala parliament eziyise mu mbalirira eyenyoongereza.
Omuzikiti guno byebimu ku by’obugagga kkooti byeyakkiriza omugagga Justus Kyabahwa okutunda okununula ensimbi ze, zabanja abakulembeze ba Uganda supreme council olw’ettaka lye Ntuusi mu Ssembabule lyebaamuguza wabula nebatalimuwa.
Ministry yekikula kyabantu era eyagala ensimbi obuwumbi 30 mu mbalirira eyenyongereza nga zakuliisa baana abatwalibwa mu bifo ewakuumibwa abaana bakiwagi, abajjibwa ku nguudo ebimanyiddwanga remand Homes .
Government era eyagala obuwumbi bwa shs 9 okubuwa omugagga Sudhir Rupalleria okumaliriza omulimu gw’okuzimba ekifo ekituuza enkungaana ku woteeri ye eya speke Resort Munyonyo.
Zino zakweyongera ku nsimbi obuwumbi 86 , government zeyasooka okuwaayo okuzimba ekifo kino ewagenda okutuula olukungaana lwa Non Allied Movement omwaka ogujja 2024.
Ekitongole ky’amakomera kyagala obuwumbi 79 obwenyoongereza okuliisa abasibe mu makomera.#