Jjajja w’obusiramu Omulangira Dr. Khassim Nakibinge Kakungulu asabye government ya Uganda okukomya okusasaanya ensimbi z’omuwi w’omusolo ku bintu ebitatwala Uganda mu maaso, ekituuse n’okwongeza omusolo eri bannansi abamu ne batuuka n’okwekalakaasa.
Jjajja Mbuga abadde ku muzikiti e Kibuli nagamba nti bannansi balumwa ng’ensimbi z’omusolo ze basasula tezirina kyezikola ate nga babinikibwa omusolo munene nnyo, nasaba government etuule ku meeza eteese n’abasuubuuzi abatanudde okwekalakaasa nebatuuka n’okuggala amasanyalaze.
Mungeri yeemu Omulangira Dr. Khassim Nakibinge Kakungulu asabye government okuyimbula abantu bonna abaakwatibwa olw’eby’obufuzi era nasaba enteekateeka ezaakakolebwako abantu bano okuyimbulwa zitambule bulungi.
Ku lwa government, minister wa Micro finance Al Hajji Kyeyune Harunah Kasolo, agambye nti ensonga zonna government ezirondola era zijja kugonjolwa, kyokka nasaba ababaka ba Parliament okukola omulimu gwabwe okugonjola ensonga ezimu.
Supreme Mufuti wa Uganda Sheikh Muhammad Shaban Ggalabuzi asabye abasiraamu okwerinda endwadde zinnamutta nga mukenya era yeyanzizza Ssabassajja Kabaka olw’enteekateeka zataddewo okulwanisa endwadde, nga nga bwegwabadde mu misinde gy’amazaalibwage.
Okusaala ku muzikiti e Kibuli era kwetabidwako Owek Ahmed Lwasa amyukaomukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek Hamis Kakomo minister w’ebyobulimi obusuubuzi n’obwegassi, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda nabalala.
Okusaala oluwedde abasiraamu nebasiibuluka mu maka g’Omulangira Nakibinge.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe