Governmmment eyimirizzaamu okuteekesa mu nkola, enkola y’okukuba engassi eyembagirawo eri abagoba b’ebidduka abamenya amateeka amapya agokunguudo ( Express Penalty System)
Ministry y’ebyentambula n’enguudo mu kiwandiiko kyefulumizza etegeezezza, nti okutandiika nekiro kya nga 11 June,2025, enkola eno, ey’okukuba engassi abagoba b’ebidduka abakwatibwa camera z’okunguudo,egenda kuyimirira okumala ebbanga eritali ggere, government ebeeko byeyetegereza.
Ekiwandiiko kitegeezezza nti minister w’ebyentambula Gen. Edward Katumba Wamala wakufulumya okulambika okusingawo ku nsonga eno.
Okuva enkola Eno lweyatandika okuteekebwa mu nkola, wabaddewo okwemulugunya okuva mu bagoba bebidduka olwomutemwa gwensimbi omuyitirivu ogukubwa mu ngassi.
ABagoba bebidduka bagamba nti enkola eno teyaleeteddwa mu mutima gwakutereeza byantambula, wabula okunyunyunta ensimbi mu bannauganda.#