Ministry y’ebyensimbi etongozza omwezi gw’embalirira y’eggwanga ekyali mu bubage, egenda kumala omwezi mulamba ng’esomesa bannauganda ebiri mu mbalirira eno y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2024/2025.
Embalirira eno eya trillion 72, essira ligenda kusinga kussibwa kubintu 4, omuli okutumbula amakolero, eby`obulambuzi, Science ne technology wamu neby`obugagga eby`omuttaka.
Ebirala ebigenda okutekebwa essiri , mulimu okutumbula ebyenjigiriza, eby`obulamu, okutondawo emirimu, omukola enguudo, okudaabiriza eziri mu mbeera embi, ezegaali y`omukka, wamu n`okuzimba Uganda Gadge Railway.
Ebirala mulimu okubunyisa amazzi amayonjo ku buli munnaUganda, amasanyalaze, okwongera ssente mu bintu ebikulakulanya abantu, enteekateeka ya bonna bagaggawale, emyoga, Parish Development Model, n’ebirala.
Omuteesiteesi omukulu owa ministry y’ebyensimbi, Ramadhan Ggoobi, agamba nti embalirira eno bagenda kujibunyisa eri bannaUganda nga bajissa mu nnimi ezitegerwa abantu babuligyo, nga beyambisa emikutu gy’amawuliire, n’okufuna ebirowoozo byabwe.
Agambye nti bagenda kweyambisa budget Eno balage abawi b`omusolo ssente zabwe weziraga, era babanyonyole nenkola empya ey`okuwooza omusolo eya Efris.
Wabula wakaati mu kutondogoza omwezi gwe mbalirira Eno, ku serana Hotel mu Kampala, minister omubeezi avunaanyizibwa ku bamusigansimbi Evenly Anite, avudde mu mbeera nagugumbula abali benguzi abali mu goverenment nti bebagenda okulemese embalirira eno okutekebwa mu nkola.
Evelyn Anite wano wasinzidde nasaba government eyongere okumyumyula amateeaka agakangavula abali benguzi,n’asaba bannaUganda betabe buterevu mu lutalo lw`okulwanyisa enguzi nga baaniika abagirya.