
Gavumenti ekakasizza ebifo ebirala bina omugenda okukeberebwa abantu ekirwadde ki COVID 19, kiyambeko mu kukirwaanyisa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Ebifo bino kuliko Lascent Labalatory, Test and fly, MBN Labalatory, Medipol hospital byakusasulira ensimbi okukola ku biva mu banaaba bakebeddwa.
Bwabadde ayogerako eri eggwanga minister omubeezi ow’ensonga za Kampala Benny Namugwanya agambye nti newankubadde ebifo bino bikakasiddwa okutuusa obuweereza mu bantu , okunyooma amateeka agalwanyisa Covid 19 kukyaali kungi mu bannansi okwetoloola eggwanga.
Minister Benny mungeri yeemu alabudde nti tebagenda kukkiriza nkola yaakutimba bipande byabesimbyeewo mu kampala awatali ntekateeka nungamu egobereddwa, kubanga bitataaganya abantu naddala abayita ku bityaala byokunguudo.