Gavument etangaziza nti enguudo Uganda zegenda okusaasaanyako ensimbi okuzimba mu ggwanga lya DR Congo egenda kuzisaamu ensimbi eziweze ebitundu 20% ku muwendo gwensimbi ezigenda okukola project yonna eyokukola enguudo zino.
Gyebuvuddeko parliament yayisa ensimbi obuwumbi 220 mu mbalirira eyenyongereza okuzimba enguudo mu ggwanga lya DR congo nga ensimbi zino zigenda kuva kweezo gavument zeteekateka okwewola okuziba ebitali ebiri mu mbalirira yomwaka gwebyensimbi 2020/2021 olwemisolo egyeveera.
Wabula gavument okuzimba enguudo mu DR Congo nga ezaawano ziri bubi nnyo, kyaanyiza bannansi bangi nga nababaka ba palament kwobatadde yadde bebaaziyisa.
Minister webyentambula nenguudo Gen Katumba Wamala agambye nti abantu ensonga ya gavument okuzimba enguudo mu DR Congo baagifuna bubi,gavument ssi yegenda okusasula ensimbi zonna ezenguudo zino, wabula egenda kukwaasizaako DR Congo nensimbi ebitundu 20% endala DR congo yeeba ezisasula ezisigadde.
Minister Katumba wamala asinzidde mu kakiiko ka palament akalondoola ebyenguudo nebyentambula ababaka mwebasinzidde okumuteeka kunninga okutangaaza ku nteekateeka yokuzimba enguudo mu DR congo, naagamba nti enguudo zino abakulembeze bamawanga 2 bakaanya mu mwaka 2019 okukola enguudo zino okunyweeza ebyokusubuliragana wakati wensi ebbiri.
Okusinziiira ku Gen Katumba Wamala Uganda yanyigirizibwa nnyo , Rwanda bweyagalawo ensala emaali yabannayuganda yayononekera ku nsalo songa akatale Uganda keefuna mu Rwanda katono nnyo, naagamba nti Uganda bwekwaasizaako DR Congo enguudo zomu Congo nezikolwa Uganda yaggya okusinga okufunamu kubanga akatale ke DR congo kanene ddala.
Bwatereddwa kunninga okunyonyola ku biwulirwa nti kampuni yakuno eya Dott Services yegenda okuzimba enguudo zino, minister Katumba akkiriza nti kituufu wabula ejja kukolera wamu ne kampuni endala.
James Baba omubaka wa palament akikikirira Koboko County wabula yewuunyiza ku bosobozi bwa kampuni eno eya Dott Service gyagambye nti terina busobozi olwenguudo zeze eweebwa wano munda mu ggwanga neremererwa okuzikola oluusi nekola gaddibe ngalye.
Minister Katumba mukwanukula agambye kampuni eno ejja kukolera wamu ne kampuni endala.
Ye omubaka wa James Waluswaaka memba ku kakiiko kano atadde minisita kunninga atangaaze engeri palament evunanyizibwa ku kulondoola ensaasaanya yensimbi zomuwi womusolo gyegenda okulondoolamu enguuzo ezigenda okuzimbibwa ate mu ggwanga eddala, songa zisaasaanyiziddwa ensimbi zabannayuganda.
Minister Katumba mukwanukula bano, agambye nti amawanga gombi abiri gagenda kutondawo akakiiko akawamu, akanakwasaganya projects zino, abanaava mu Uganda bebagya okutegezanga palament ensonga ezikwaata ku projects eno.