Abayimbi ba GANDA BOYS okuli Denis Mugagga ne Daniel Ssewagudde basomoozezza abazadde okutwala obuvunaanyizibwa bw’okusomesa abaana ennono n’obuwangwa byabwe okuva nga bakyali bato bakule nga babyenyumirizaamu.
Abayimbi bano babadde mu Kisaakaate kya Nnaabageraka nga bogera eri abasaakaate, ku mulamwa ogw’okubagazisa olulimi Oluganda, nebebaza nnyo Maama Nnabagereka okutumbula olulimi oluganda, obuwangwa n’ennono ng’ayita mu kisaakaate.
Abayimbi bano abali ku mulimu gw’okutalaaga ensi yonna nga bagazizza abantu olulimi oluganda, n’ekitiibwa kya Buganda, basabye abavubuka n’abaana abato okwagala ennyo olulimi lwabwe Oera balwogere mu butuufu bwalwo awatali kwemotyamotya.
Ekisaakaate kya Nnabagereka kyatandika ng’ennaku z’omwezi 05 omwezi guno, kifundikira olwaleero nga 21 ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe-Mukono, abazadde baweebwe abaana babwe okubazzaayo awaka.
Ssenkulu w’eKitongole kya Nnaabagereka Development Foundation Omukungu Andrew Andrian Mukiibi agambye nti Ekisaakaate ky’omulundi guno kibadde kyabibala era ono asabye abazadde okutondawo empuliziganya ennungi n’abaana babwe.
Ekisaakaate kino Gatonnya 2023 ekimaze wiiki ezisoba mu 2 nga kiyindira ku Ssomero lya Muzza High School e Kabembe mu district eye Mukono, kibadde kitambulira ku mulamwa ogugamba nti “Okuttukiza obusobozi obukusike, ku lwokwekulakulana”.
Abaana abasobye 600 abali wakati w’emyaka 6 -18 bebakyetabyemu.
Bisakiddwa: Sseruyange Christopher