Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kiwaddeyo emipiira eri club zonna 16 eza Uganda Premier League, mu kwongera okwetegekera obulungi season empya eya 2025/26 eyatandika nga 26 September.
Buli club ekwasiddwa emipiira 30 ekika kya Zakayo, nga emipiira gino gikolebwa kampuni ya FUFA eya Janzi, era nga gwe mupiira omutongole oguteekeddwa okuzannyibwa mu liigi zonna eza FUFA.
Omumyuka ow’okusatu owa president wa FUFA, Owek Florence Nakiwala Kiyingi, yaakwasizza abakulembeze ba club zino emipiira gino egibalirirwamu ensimbi za Uganda obukadde 50.
Omukolo guno gubadde ku kitebe kya FUFA e Mengo mu Kampala.
Wabula club ya Vipers era terabiseeko olw’ensonga nti ekyawakanya okuvuganya mu liigi empya okutuusa nga FUFA eyanukudde ensonga ze bemulugunyako ezekuusa kunzannya empya eya liigi, eyaletebwa okutandika ne season eno 2025/26.
Uganda Premier League egenda kuddamu okuzannyibwa enkya ku Wednesday 15 October,2025 oluvanyuma lw’okuwummulamu akaseera, okuwa omwaganya emipiira gya FIFA World Cup Qualifiers okuzannyibwa.
UPDF egenda kuzannya ne Maroons e Bombo ate nga Villa Jogo Ssalongo yakuzannya ne Entebe UPPC mu kisaawe kya FUFA ekya Kadiba.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












