Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’ensero mu Uganda ekya Federation of Uganda Basketball Associations FUBA, kironze Alberto Atuna ng’omutendesi omugya owa ttiimu y’eggwanga ey’abakazi eya The Gazelles.
President wa FUBA, Nasser Sserunjogi, yayanjudde omutendesi ono ku mukolo ogubadde ku Hotel Africana mu Kampala.
Munnansi wa Spain Alberto Atuna, ku mulimu guno agenda ku myukibwa omutendesi wa UCU Lady Canons Nicholas Natuhereza n’omutendesi wa JKL Dolphins Henry Malinga.
Atuna emirimu gye agitandikidewo mbagirawo n’okuteekateeka ttiimu egenda okukiikirira Uganda mu mpaka za FIBA Women Zone V Afro Basket Qualifiers, ezigenda okutandika nga 14 okutuuka nga 19 omwezi ogujja ogwa February e Lugogo mu Kampala.
Uganda egenda kuba erwana okukiika mu mpaka ezakamalirizo eza FIBA Women’s Afro Basket Championships, ezinabeera e Rwanda omwaka ogujja 2024.
Mu ngeri yeemu Uganda Gazelles erwana okuddamu okukiika mu mpaka zino omulundi ogw’okusatu, nga yasooka mu 1997 e Kenya ne 2015 e Cameroon.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe