Police y’e Iganga erinnye eggere mukolo gwa banakibiina ekya FDC, babadde bategese okusonda sente okuddaabiriza eddwaliro erya Kidaago health centre II mu Iganga eriri mu mbeera embi.
Police eyungudde abampi nabawanvu okubayiwa mu kifo awategekeddwa omukolo, neeragira abantu ababadde batandise okutuuka okuddayo gyebavudde.
RDC e Iganga era nga y’akulira obutebenkevu mu district Wandera Sadala agambye nti abategesi baaluddewo okutegeeza ku wofiisiye ne ku police okubawa obukuumi.
Agambye nti babasabye wabulayo ennaku bbiri zokka, omukolo gw’okusonda ensimbi gubeewo.
Wabula sentebe we kitundu kino Nyongesa Edward avumiridde enkola ya police, nagamba nti abantu abavaayo okukwatizaako ku mirimu egigasiza awamu abantu bandibadde babaleka nebabikola.
Bisakiddwa: Kirabira Fred