Obukulembeze bw’ekibiina ki FDC obutuula e Najjanankumbi bulagidde ababaka ba FDC okuddayo bakiike mu ntuula za parliament, bave mukwekandagga oludda oluvuganya goverment kwerulimu.
Nampala wa FDC mu parliament Yusuf Nsibambi agambye nti kyasoose kutuula nekyekenneenya ensonga eno, era nekisalawo ababaka bakyo badde mu parliament bateeseze eggwanga.
Nsibambi agambye nti wadde memba ku lukiiko olukulembeze olw’oludda oluvuganya government olwasalawo ensonga yokweesamba entuula, nti naye ebirowoozo byatwala mu lukiiko luno zibeeera zakibiina kyavaamu.
Awadde eky’okulabirako nti government eteekateeka okwanjula n’okuyisa embalirira y’eggwanga ey’omwaka ogujja 2024/2025, nga n’olwekyo tebayinza kusigalira mabega nga tebawaddeeyo birowoozo byabwe.
Omuloodi meeya wekibuga kampala era omukulembeze wekiwayi kya FDC ekituula e Najjanankumbi ye awabudde ababaka ba
Ababaka ba FDC abatali bamu okuli omubaka omukyala owa district ye Dokolo Celia Ogwal, Ssabawandiisi wa FDC Nathan Nandala Mafabi era omubaka wa Budadiri west babadde beetaba mu ntuula za parliament, wadde nga banabwe babadde mu kwekandagga.
Akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba bweyaali alangirira eky’okuzira entuula za parliament ng’emu ku nkola zokubanja bannayuganda ababuzibwaawo, yalagira ababaka bakulembera okusigala nga bakola emirimu emirala egya parliament okuli okwetaba mu bukiiko, okulondoola ebikolebwa government n’ebirala.
Okusinziira ku bigenda mu maaso mu kiseera kino, eky’okuzira entuula za parliament kyolekedde okusigala mu ngalo z’ekibiina ki NUP kyokka, ebibiina ebirala okuli FDC, UPC ,ne DP ababaka abamu, batandise okukuba enkyukira nga bagala okuddayo mu ntuula za parliament.#