Ssaabawaabi w’emisango gya government aggye enta mu misango egibadde givunaanibwa Milly Naluwenda eyali omuwandiisi wa kooti ya Kisekwa, abadde avunaanibwa okubeera n’akakwate kutemulwa kw’eyali omukulu w’ekika ky’Endiga Omugenzi Eng.Daniel Bbosa Kakeedo.
Ettemu lino lyaliwo nga 25 February,2024.
Kooti ya Nateete- Lubaga eragidde Naluwenda ayimbulwe, oluvannyuma lwa Ssaabawaabi w’emisango gya government okuleeta ebbaluwa eraga nti government eggye enta mu by’okuvunaana Milly Naluwenda.
Wabula ebbaluwa teyanjudde nsonga eviiriddeko government okuggya enta mu by’okuvunaana Naluwenda.
Abantu abalala 4 ababadde bavunaanibwa emisango gye gimu okuli Tabula lujja agambibwa okuluka olukwe lw’okutemula Eng.Daniel Bbosa, basindikiddwa mu kooti enkulu batandike okuwozaako.
Abalala kuliko Lujja Noah, ne Harriet Nakiguli ne Joseph Nakabaale.
Gyebuvuddeko Tabula Lujja yakkiriza emisango, era n’ategeeza nti yagikola ne Lujja Noah, nti era abalala babalanga bwemage.
Obujulizi buno bweyewaako bwebumu ku bujulizi oludda oluwaabi bweruleese, saako emmundu eyakozesebwa okutta Eng.Bbosa, akasimu akaali aka Sserunkuuma eyattibwa abadduukirize, ng’ono yeyali ne Lujja Noah era abaakuba amasasi, saako ne pikpiki kwebaali batambulira.
Bisakiddwa: Betty Zziwa







