Eyaali director wekitongole ekiketera munda mu ggwanga ekya internal security organisation Col Kaka Bagyenda omukulembeze weggwanga gweyaali alonze nga omubaka wa Uganda mu ggwanga lya Angola ,talabiseeko eri akakiiko ka palament akakuba ttooki mu bakulu omukulembeze weggwanga baaba awadde obukulu.
Okusinziira ku ssemateeka weggwanga ,ono abadde alina okulabikako eri akakiiko ka palament akakuba ttooki mu bakulu omukulembeze weggwanga baaba alonze.
Wabula yadde akakiiko omukulu ono kabadde kamusuubira mu kakiiko kano saawa 4 ezenkya,kakanze kumulinda talabiseeko okutuusa akakiiko lwekaaabulukuse
Omubaka wa Nakaseke South memba ku kakiiko kano ategezeza nti omukulu ono obutalabikako bumuyambye babadde mamwegekedde era babadde tebagenda kumuyisa
Joseph Gonzaga Ssewungu omubaka wa Kalungu naye memba ku kakiiko kano agambye nti omukulu ono olweneeyisa ye tasaana kukiikirira uganda mu mawanga amalala ,naagamba nti enfunda eziwezeeko palament ebadde emuyita nga talabikako
Ensonga entuufubl eremeseza omukulu ono tetegerekese kubanga akakiiko kano tekakkirizibaaamu bannamawulire
Akakiiko kano mu ngeri yeemu kasunsudde Hajj Hassan Galiwango nga omubaka wa Uganda mu ggwanga Lya Kenya
Hajji Hassan Galiwango adda mu bigere bya Phibby Awere Otaalo eyaali omubaka wa Uganda mu ggwanga eryo ,wabula gyebuvuddeko naasulawo ekifo kino okugenda okwenyigira mu byobufuzi wabula ate naawangulwa mu kamyuufu ka Nrm ku kyomubaka omukyala owa district ye Totoro
Hajji Hassan Galiwango agambye nti agenda kunyweeza nkolagana ya Uganda ne Kenya naddala mu byokusuubuligana