Essaza ekkulu erye Kampala litongozza omwezi gwe Ddembe ly’obuntu n’obwenkanya nekigendererwa okyokulaba nga emirembe gibukala mu ggwanga lyonna.
Omwaka guno essira liteekeddwa ku nsonga y’okukozesa omutimbagano okukyuusa embeera z’obuntu mukulafuubanira emirembe munsi yonna.
Bwabadde akulembeddemu okukumba okwemirembe n’okukola bulungi bwansi mu katale ka Nansana Daily Market , Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere alaze okutya olwabantu abayittiriza okuliisa banabwe akakanja nebababuzaako obwekyusizo munsi yabwe, nga mukadde kano buli muntu ali kubunkenke.
Bishop Ssemogere era akangudde eddoboozi ku bukyafu obusukkiridde mu bitundu, asabye abakulembeze okuvaayo mubwangu okutaasa embeera esusse ogw’omulamuzi nga abantu kasasiro bamumansa nga bwebagala.
Akulira ekitongole kya Justice and Peace mu ssaza ekkulu lye Kampala Rev Fr Emmanuel Ssita asinzidde wano nategeeza nti ssinga abantu bakolerera obwenkanya, buli muntu yandyeyagalidde mu ddembe erimuweebwa mu butonzi ng’omuntu.
Mayor wa Nansana Municipality, Regina Nakkazzi Bakitte era nga ye President w’obwenkanya n’eddembe mu ssaza lye Kampala avumiridde abavubuka abalemeddwa okukozesa omutimbagano okubaako kyebafuna wabula nebagweyambisa kuvoola balala .
Enteekateeka eno yakulembeddwamu okusimba emiti , bulungi bwansi , olussisira lw’ebyabamateeka n’olwebyobulamu ,nga ekitongole kye Ekrezia ekya Catholic Centre for Legal Aid service wamu naba St Joseph’s Hospital e wakiso beebabikulembeddemu.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo