Nanfuka Sandrah awangudde empaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Ssaza Kabula.
Empaka zino zaategekeddwa ministry Y’ebyobulambuzi, Ennono n’Obuwangwa mu Bwakabaka bwa Buganda.
Omwami wa Kabaka ow’essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi, yeebazizza abazadde okukkiriza abaana babwe okwetaba mu mpaka za Nnalulungi we Ssaza Kabula,wabula yenyamidde olwabaana abataagala kugoberera ebifa mu ggwanga lyaabwe.
Nnalongo Shifah Namubiru, Omuwandiisi wa Ministry y’ebyobulambuzi, Ennono n’Obuwangwa mu Bwakabaka bwa Buganda, asanyukidde enteekateeka ez’okunoonya Nnalulungi we Ssaza Kabula, nagamba nti obwakabaka bulina enteekateeka ey’okukulakulanya ebitone bya bavubuka naddala abawala.
Ahumuza Pacious, akutte kyakubiri ne Numugenyi Pauline kyakusatu, era bano bebayiseewo obutereevu okwesogga empaka za Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda, nga bakiikiridde essaza Kabula. Omuwagunzi wakuweebwa ekirabo kya Mmotoka.
Bisakiddwa: Kanwagi Baziwaane