Bya Nakato Janefer
Units zomusaayi 11,648 ze zikunganyiziddwa mu Ssaza lya Kabaka Bulemeezi mu bbanga erye nnaku etaano.
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima ng’ayita mu kitongole kye ki Kabaka Foundation okulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.
Essaza Buddu lyeryaggulawo okugaba omusaayi, baakunganya Units 8,160, Busiro Units 9345, Kyadondo Units 18,318,Singo Units 13,170 ,Kyaggwe 13,106, kati essaza Bulemeezi lyerikyasembyeyo likunganyiza Units zoomusaayi 11,648.
Enteekateeka eno ewagirwa Radio CBS ,Uganda Red Cross ne Uganda Blood Transfusion Services.
Kangawo Ronald Mulondo omwami wa Kabaka atwala essaza Bulemezi y’aggaddewo mu butongole enteekateeka emaze ennaku 05 mu ssaza lyakulembera.
Yebazizza bannabulemeezi olw’okujjumbira enteekateka y’okutaasa obulamu.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala ategezezza nti Ssabasajja yabawa ekiragiro kya myaka 2, ng’ebbula ly’omusaayi liweddemu mu ggwanga Lyonna.
Sarah Mutengobwa akulira ebyokukunga nokubangula abantu ku bikwata mukugaba omusaayi okuva mu kitongole ki Uganda Red Cross Society, ategezezza nti balina essuubi nti omusaayi ogukunganyiziddwa mu Ssaza Bulemeezi obulamu bwa bantu bangi bwakutaasibwa.