Olukiiko olukulembeze olw’olukiiko lw’Abataka abakulu b’obusolya mu bika by’Abaganda, banjudde enteekateeka y’okulonda Omutaka Lwomwa omuggya, omukulu w’ekika ky’Endiga okudda mu bigere by’omubuze Eng. Daniel Bbosa Kakeedo.
Eng.Bbosa yakubwa amasasi nga 25 February,2024 bweyali anaatera okutuuka mu maka ge e Lungujja.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba agambye nti balonze ba Katikkiro okuli owa Kabazzi (Kasimba) Andrew Lwanga n’owa Mbaziira (Nnyonyi) Kato Lufuuma okulungamya n’okuyambako ab’ekika ky’Endiga okulonda Lwomwa nga bagoberera ennono entuufu.
Abataka okubadde; Omut. Nakigoye, Omut. Muteesaasira, Omut. Nsamba ne Omut Kidimbo bagambye nti amangu ddala nga Lwomwa omuggya alondeddwa n’ayanjulirwa Ssaabasajja, olwo omubuze Eng. Daniel Bbosa engeekateeka zokumutereka zakwanjulwa.
Omutaka Nnamwama agambye nti basuubira nti entegeka z’okulonda Lwomwa omuggya ziyinza okutwala ebbanga lya wiiki emu.
Mu mbeera yeemu, abataka balangiridde nti nga 29 February, 2024 lwebanaakungubagira Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa mu butongole, n’okumujjukira olw’emirimu Katonda gy’amusobozesezza okukola mu bulamu.
Abataka bavumiridde ekikolwa ky’ettemu ekyakoleddwa ku munnaabwe nebasaba government mu bwangu ebeeko kyekola okukendeeza ettemu n’abantu abakalaakaala n’emmundu ekyere bakangavvulwe.
Bajjajja era bavumiridde abeegumbulidde omuze gw’okukozesa emikutu emigatta bantu okuwalampa abalala n’okujweteka ebigambo byebatalinaako mutwe na magulu.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K