Abamegganyi abaneetaba mu Program Entanda ya Buganda 2023 balambikiddwa mu mateeka gebalina okugoberera.
Abamegganyi basomeseddwa amateeka agagenda okugobererwa era nebagassaako emikono.
Program Entanda ya Buganda yaakutandika nga 9 October,2023 ku 88.8 CBSFM ku ssaawa ssatu n’ekitundu ez’ekiro.
Entanda 2023 yaakutambulira ku mulamwa ogw’okutumbula Obutonde bw’ensi.
Abamegganyi 60 bebasunsuddwa okugyetabamu.
Ku mulundi guno abakyala abasuumuusiddwa beyongeddeko obungi bwogeragenya n’abaliwo omwaka ogwayita 2022.
Abakyala 8 bebagenda okuvuganya n’abaami 52 era bano bona bayisiddwa mu mateeka agagenda okugobererwa, okusobozesa buli omu okwolesa obumanyi bwe.
Akulembeddemu entekateeka eno Lubega Ssebende nga yomu kubatekateeka Program Entanda ya Buganda, asoomoozezza abamegganyi bonna okunnyikiza okunonyereza kwabwe, okusobola okuleka omukululo n’okusukuluma ku bamegganyi b’emyaka egiyise.#