Government esaze ku mbalirira y’ensimbi eziteekebwa mu by’obulimi, n’obuwumbi 170 mu mwaka gwebyensimbi ogujja 2024/2025, okugerageranya n’embalirira y’omwaka ogugwaako 2023/2024.
Ensimbi zino ezaasaliddwa ku mbalirira y’ebyobulimi n’obulunzi zirabikidde mu kiwandiiko ekitongole ekinnyonyola enteebereza y’embalirira y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2024/2025, ekimanyiddwanga budget frame work paper.
Mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogugenda mu maaso 2023/2024, government yateekamu ensimbi trillion 1 n’obuwumbi 813 mu by’obulimi n’obulunzi, zezisaliddwako obuwumbi 170 okukka ku trillion 1 n’obuwumbi 614 mu 2024/2025.
Ekitongole kya NAADS kino nga kyekisomesa n’okuwabula abalimi n’abalunzi ku nnima ey’omulembe nakyo ensimbi zaakyo zisaliddwa okuva ku buwumbi 43 okutuuka ku buwumbi 35.
Kinajjukirwa nti ensimbi ezisinga ezaali ziweebwa ekitongole kino zagyibwayo nezitwalibwa mu nteekateeka ya parish development model.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’emmwanyi ki UCDA kiweereddwa obuwumbi 44.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gwa ppamba kiweereddwa obuwumbi 5 bwokka, songa ekitongole ki National Animal genetic Research Center and Data bank kiweereddwa obuwumbi 79 mu mbalirira y’omwaka 2024/2025
Ekitongole ekivunanyizibwa ku mutindo gw’amata ki Uganda Dairy development Corporation kisigazza ensimbi obuwumbi 18 ezaakiweebwa mu mwaka guno 2023/2024, ne mu 2024/2025 zekisigazza
Ekitongole kya NARO kiweereddwa obuwumbi 166.
Government egamba nti ebyobulimi n’obulunzi biwanirira bannansi ebitundu 61%.
Embalirira yeggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2024/2025 ekyali mu bubage ya trillion 52 n’obuwumbi 730.#