Mu lumeggana Kinyoolankoto mu program Entanda ku 88.8, nga 11.12.2023, Abamegganyi; Kayemba Walgembe eyafunye obugoba 23 n’omukyala Nnasiwa Pross eyafunye obugoba 19 baayiseewo okwesogga olumeggana oluddako ate Kizito Innocent eyafunye obugoba 13 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’entanda;
1. Ani ssenkulu wa Buganda Royal Institute oluvannyuma lw’okuwummula kwa Dr. Anthony Wamala? – Owek. Joseph Ssenkusu Balikuddembe.
2. Okukomba mu kibatu kitegeeza ki? – Kukuba nduulu
3. Amakulu g’ekigambo evvu ga mirundi ebiri – Evvu ly’omukyoto n’evvu eribeera wansi w’olulagala
4. Omubala gw’ekibiina ky’olulimi Olugaganda gugamba gutya? – Olulimi ly’eggwanga
5. Atta ekizige asooba, lutegeeza ki? – Tetusaana kupapa nga tulina kyetukola
6. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome By’oluganda n’ensomesa yaabyo? – MB Mulumba
7. Embuzi oluusi erina kyekola, omulunzi n’akitaputa nti ekungula, kikolwa ki ekyo? – Okulanga ensingo
8. Omukazi lw’agula ettooke ng’akalombolombo ka Abaganda – Akuulakuula obuddo awo wennyini waaba ayunze ettoke
9. Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II yeyasooka okubeera Ssenkulu wa Muteesa I Royal Unvirsety ani mumyuka wa ssenkulu? – Prof Vincent Kakembo
10. Ekisoko, Ndirimugoye kitegeeza ki? – Okubeera omulwadde ennyo nga tova ku ndiri
11. Mu bintu omuganda byeyeeyambisa mu maka ebitalina bulamu, waliwo ebirina amaaso, tuweeyo bibiri. – Entamu n’eggaali
12. Omukolo gw’ekibiina ky’Olulimi oluganda ogwabadde wano ku Sunday gwabadde mu kifo ki? – Buganda Tourism Centre
13. Olugero, Wakka awunya nga ggwe omulumbye mu nje ye, kitegezza ki? – Ebizibu ebisinga ffe tubyereetera
14. Ani yawandiika ekitabo Ekinywa ky’amaggwa? – Kibuuka Chuka
15. Mu buwangwa bw’Abaganda nga bwekuusa ku kufumbirwa mu limu embuzi, omukolo ogwekuusa ku mbuzi guyitibwa gutya? – Okuwuusa omugole
16. Ennyunja y’ekitooke kya Gonja eyawukana etya n’ennyunja y’ekitooke ky’emmere eyabulijjo – Gonja omugogo tegukutulwa ate eky’ettooke omugogo gukutulwa
17. Owek. Coltilda Nakate Kikomeko ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza, bweyali tannafuuka minisita yali mukulu wa ssomero, yasembyayo ssomero ki okukulembera? – Trinity College Nabbingo
18. Okunaaba amaaso ku musulo kitegeeza ki? – Okukeera ennyo
19. Amakulu g’ekigambo ngoye – Ze twambala n’emiko gyamalagala agagenda okubyalibwa
20. Omukolo gw’ekibiina ky’Olulimi Oluganda ogwabaddewo wiiki ewedde gwatuumwa linnya ki? – Olujjuliro
21. Mmandwa mbi evumaganya agisamirira, lutegeeza ki? – Tusaana okulongoosa emirimu gyaffe abalala bagyettanire
22. Ani yawandiika ekitabo Obuwanga N’ennono Ebyabaganda? Elusaamu Kituuka ne Katamba Mutyaba.
23. Embuzi ennume ezimu ziyimiriza ebyoyo ku mugongo n’obusungu, ebyoya ebyo biweebwa linnya ki? – Oluginirizi
24. Muzizo ki omukulu oguli ku mugogo okuli etooke eriyunjiddwa? – Endagala zaakwo tezikozesebwa kusaaniika mmere era n’ebyayi byakwo
25. Omulimu gw’obutuuza bwa Kabaka gwatandika ddi? – Ku mulembe gwa Kabaka Mulondo
26. Ekiwempe kyebaluka mu byayi kiyitibwa ekirago, kiweebwa linnya ki eddala? – Akaayi
27. Ekiryokya embi kyekiryokya n’ennungi, kiki kyababa boogerako? – Ekitawuliro
28. Kabaka wa Buganda omu alina amasiro ge mu Kyaddondo. – Kabaka Muteesa I
29. Ensiisira z’omulumbe, abajjwa tebazizimbulula, bazikola ki? – Bazaabya bwabya
30. Omukulu w’abaweereza bonna ab’omu;lubiri aweebwa linnya ki ery’ennono? – Ssaabakaaki
31. Omuntu asosonkereza munne ng’ayagala anyiige era balwane, aba amukolaki? – Okusokaasoka
32. Olugero: Kaddulubaale tanfuga – Nga simugolewe
33. Ekiwu kya Kabaka ekijjudde obulungi kibeerako amaliba ga ngeri nnya, tuweeyo ssatu – Engo, Empologoma n’ente
34. Essaza lya Mumyuka wa Buganda – Teririiyo kubanga Kabaka tamyukibwa mu masaza
35. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Kusobya – Omukyala ng’aluka omukeeka asobola okugusobya n’omwami okusobya omwana we ng’akoze obwezi
36. Tetugamba nti Omumbejja ali lubuto, tugamba tutya? – Nti azitoye
37. Akaddo akayitibwa akava magombe akalina erinnya eddala ekikaweebwa linnya ki? – Akava wala
38. Enju gyebageraageranya ku Yamugogo e Ssenyi eba efaanana etya? – Eba nnene ng’eriko emiryango mingi
39. Omuganda waliwo abantu baayita Ensongoza-mumwa, tuweepyo ba mirundi ebiri.- Omusajja omuwuulu n’omukazi omukambwe ennyo
40. Mu bivuga by’Omuganda eby’ekinnansi mulimu kyebayita endongo, kyekitya? – Entongooli
41. Waliwo enva abaganda zebawanuuza nti zezikwasa nnawolovu mu maaso, ze ziriwa? – Ntula
42. Olugero: Nnasuze lungaaya – Asekerera wangenda nalwo
43. Olwendo lwebayita olwisi lweruba lutya? – Lweruba n’omukonda ogwewetamu
44. Ekisoko. Okusala mu z’e Kibuye -Okukola eky’omuzizo
45. Ekigambo Okutetevvula eri mu lulimi oludda mu kulya kitegeeza ki? – Okulya ebyassava naye ng’omuntu oyo aliko byeyeekulisa.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K.