Abamegganyi Ssempijja Nyansio eyafunye obugoba 20 ne Kalulu Godfrey eyafunye obugoba 19 basuumusiddwa okweyongerayo mu lumeggana oluddako ate Kasagga Robert Kavuma eyafunye 7 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’Entanda eya nga 27 November,2023.
1. Kabaka alina omumbowa gwebayita Ssebatta, wakika ki? – Ngeye
2. Olugero luno lutuyigirazaaki? Anaalemwa ebbuzi okutuga nti lintunuulidde – Lutuyigiriza obutwekwasakwasanga busongasonga nga tulina kyetuteekwa okukola
3. Abayizzi balina ekigambo Mulyambisi, kyeki? – Effumu
4. Enkoko ewerennemba, mu kuwerennemba eba ekola etya? – Eba etandika okukookolima
5. Omuntu okuba neerya Alifuleedi, kitegeeza bubbi. Erya Alifuleedi kyekki? – Eggalo
6. Ani yawandiika ekitabo Olusozi lw’abatulege? – Andrew Benon Kibuuka
7. Tuweeyo engeri bbiri Omuganda zeyeeyambisa okutangira emisota awaka? – Ayinza okusimba taaba okwetoloola amaka n’okusimbawo ebimera ebirala ebiwunya
8. Mulangiraki eyasomesa Kabaka Daudi Cchwa empisa ez’obulangira? – Omulangira Nuuhu Kyabasinga Mbogo
9. Kabaka bwaba agenda okuyigga waliwo ekimu ku bika by’Abaganda ekimukulembera kyekiriwa? – Ab’embwa
10. Olugero luno lutuyigiriza ki? Kibi kyo kikira ekirungi ekyamunno – Lutuyigiriza okuba abamativu nekyetulina
11. Abayizzi balina ekizigo kyebayita eky’omukukumbo, kyekiriwa? – Kyekyo ekibaako ensolo ennyingi ate nga zanjawulo
12. Abalunzi b’enkoko balina ekigambo ekiteekerezo, kitegeeza ki? – Ekibbo enkoko mweyalulira
13. Okuba mu gwe busami kisoko kitegeeza mbeera yakusoberwa, ogw’e Busami gwemuki? – Omugga Nneemagaza
14. Ani yawandiika omuzannyo Muduuma kwekwaffe? – Wyclif Kiyingi
15. Tuwe engeri bbiri omuganda zeyeeyambisa okutangira obusagwa bw’omusota okutambula mu mubiri gwe? – Okusiba ekigoye waggulu ne wegulumye n’okusalawo omusaayi negufuluma
16. Tuwe omwaka omuzungu weyatandikira okusomesa Kabaka Daudi Chwa II? – 1905
17. Waliwo omumbowa ayitibwa Mpinga, ava mu kika ki? – Lugave
18. Olugero, Tunaabiwulira tadduukirira nduulu, lutegeeza ki? – Sikirungi okulekerera bannanffe nga bali mu buzibu
19. Waliwo abayizzi kyebawanuuza ku nsolo ezigiddwa omukazi, ensolo eyo bagiwanuuzaako ki? – Bawanuuza nti eteekwa okufa
20. Abaganda balina enkoko bagiyita Nkooto, yeetya? – Yetaba nabyoya ku lusingosingo
21. Okusindibwa ow’e Bukeerere, mbeera ya kubongoota, Ow’e Bukeerere yaani? – Mulo
22. Ani yawandiika Omuzannyo Omunaala? – Ssenkubuge Siyaasa
23. Waliwo emisota Omuganda gyagamba nti tegiba na busagwa, tuweeyo ebiri? – Nnawandagala ne kirumirampuyibbiri
24. Omusomesa omuzungu eyayigiriza Ssekabaka Daudi Chwa II olungereza yali ani? – JCR Sturock
25. Mu muzannyo gw’okubonga enje mulimu kyebayita Kiddu, kye ki? – Kiddu y’enje eba ekubiddwa neeva ku lubongo
26. Olugero: Mpaawo atabukuttira – Ne nnazaalawo abukuttira
27. Kkoyi kkoyi…Enjuba erya ddi ebiwata? – Kawungeezi
28. Ssinga owulira Omuganda ng’agamba nti Omwenge gwajadde – kitegeeza nti omwenge gwabadde mungi nnyo, abanywi negubalemerawo
29. Ekisoko, Okuzza erinnya kitegeeza ki? – Omuntu okugenda awantu n’afiirayo, nebamuziikayo
30. Mu lulimi oludda ku gonja mulimu kyebayita Effa mpewo, effa mpewo kyeki? – Kyekiwagu kya gonja ekibeerako omunwe gwa gonja gumu naddala nga kyangabo
31. Kabaka ki eyakazibwako erinnya Kutta kulimu ki? – Muteesa I
32. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo kisiraani – Ekikuta ky’ekikajjo ekirondeddwa mu kkubo n’omuntu okubeera n’ekifeene
33. Okukwasa ekyennyanja ku mmasuka kisoko, kitegeeza ki? – Ekintu ekitasoboka
34. Abantu nabo Omuganda abaawulamu emitendera, Omuntu gwebayita Kawene yaaba atya? – Ye muntu eyeeyisa obubi eri bantu banne
35. Olugero, Tekayira – kavunaana muwendo
36. Mu byayambalwanga ab’edda mwabangamu empogo, empogo kye ki? – Byebintu ebyayambalwanga ku mikono nga babikola mu masanga naye nga byamasanda
37. Omuntu gwebagamba nti yajja na Ngalabi yaba atya? – Yooyo gwebaagabana oluvannyuma lw’okwabya olumbe
38. Waliwo Kabaka eyakisa omukono oluvannyuma lw’okulwala obulwadde obwamukazaako oludda olumu, Kabaka ki oyo? – Kabaka Kamaanya
39. Mu ssaayansi w’abaganda, kisoboka okumanya nti omwana awezezza emyaka musanvu, akimanya atya? – Omwana ayisa omukono ku mutwe neyeekwata ku kukutu
40. Ab’eddira engabi ennyunga, akabbiro kaabwe kyeki? – Kakumirizi
41. Mpola embuzi ndikuwa ente kitegeeza ki? – Okusuubiza ebitasoboka kutuukuirizibwa
42. Olugero: Omwavu bwatunda talaba agula – ate bwagula talaba atunda
43. Omuntu gwebagamba nti asaabulula n’eriri mu kamwa? – Ye muntu anyumya ennyo nga balya
44. Okuseruggana kitegeeza ki? – Omuntu atambula ennyo, adda eno adda eri
45. Kikoyo lyerimu ku mannya agatuumibwa abaana abalenzi, kitegeeza ki mu lbulimi? – Ejjuuni eryanikiddwa nerikala
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K