Mu program Entanda ya Buganda eya nga 18.10.2023, Abamegganyi Ndawula Patrick eyafunye obugoba 24 ne Kaggwa Charles eyafunye obugoba 19 baayiseewo okweyongerayo mu lumeggana oluddako, ate Lubinga Tonny eyafunye 12 yawanduse.
Entanda eweerezebwa ku CBSFM 88.8 buli lunaku okuva ku Monday okutuuka ku Friday ng’amawulire g’essaawa essatu ez’ekiro gaakaggwa.
Biibino ebibuuzo ebyabuuziddwa abamegganyi;
1. Olugero: Sifugwa mukazi – asenga kwa Nnamasole.
2. Olubugo olusooka ku mufu bwebaba bamuzinga luyitibwa lutya? – Olutumbi.
3. Amagezi ga mirundi ebiri agayinza okuyitwamu okukendeeza ku busambattuko mu maka – Okwesigangana, n’okukendeeza ku mwenge singa baba banywi.
4. Ensangi zino omukolo gw’okwanjula gukolwamu ensobi nnyingi, tuweeyo za mirundi ebiri – Okuzinira ku buko, n’okukyusizaayo engoye.
5. Omukozi wa CBS Radio asaka amawulire okuva mu ssaza Gomba – Patrick Sserugo.
6. Ebyobuwangwa bw’Abaganda bibiri ebisangibwa ku Luguudo Kababakanjagala – Ebibumbe by’ebika n’entawetwa ya Kabaka
7. Mu ba Kabaka ba Buganda ab’oluse lwa Kintu mulimu Kabaka ayitibwa Wakyama, yaani? – Kabaka Kimera.
8. Ekisoko Okulya omuntu mu ngalo kitegeeza ki? – Okumufunako ebirungi.
9. Mu lulimi lw’abakomazi mulimu ebigambo, Ekyano n’okulega bitegeeza ki? – Ekyano kyekifo webaanika olubugo ate okulega kwekukebera ku mutuba oba gutuuse okuyimbulwa.
10. Olugero: Ssebingi bwebikwalira – Ogamba nti tebirimbula.
11. Mu ba Kabaka ba Buganda waliwo Kabaka eyazaalwa mu kisaakaate kya Kitaawe yaani? – Ssekabaka Daudi Cchwa.
12. Omuzizo gumu omukulu ogugendera ku ddagala ly’Abaganda? – Terinogwa ng’enjuba egudde.
13. Mu Buganda mulimu eggombolola mmeka? – 174
14. Omuganda bwafuna ekimenyoomenyo, afuna omuntu n’amukanda, tuweeyo ebintu bibiri byakozesa okukanda? – Bakozesa amazzi agabuguma, ebinyirikisi n’ebirala.
15. Tuweeyo ebizibu ebiyinza okuva mu kufuuyira ebirime byaffe? – Ssinga teweesabika bulungi eddagala liyinza okukuleetera obuzibu, ssinga tokozesa bipimo bituufu era oyinza okutta ebirime
16. Omuganda bwaba ayagala amazzi g’aggye mu kitaba gatukule be ttuku ttuku, akola atya? – Agayiwamu evvu.
17. Waliwo akayumba abaweesi kebazimba kakulukutiremu ebyuma nga baweesa, kaweebwa linnya ki? – Akabiga.
18. Tuweeyo endwadde bbiri ezitawaanya ennyo embuzi mu Buganda? – Nnaganga, obumwamwa.
19. Kizira omwana omulenzi okusitama enkoto, Ssaayansi ki ali mu ekyo? – Okumwewaza okufuna ebbugumu erisobola okuvaamu okutta amaka.
20. Mu mpisa z’okufumbirwa mulimu omukolo omuba ebigambo bino, Balo bibiri ggwe kimu, mukolo ki ogwo? – Kuvuma mugole.
21. Mugoziita abika okufa kwamuliraanwa we, Nabiwata. Tereeza ssentensi eyo. – Mugoziita abika muliraanwa we Nabiwata.
22. Ekikolwa ky’ensolo okukomberera ettaka awali omunnyo kiweebwa linnya ki? – Kuguga.
23. Ebika ebikola emirimu gino ku matikkira ga Kabaka e Nnaggalabi. – Okutikkira Kabaka enguugu Emmamba Kakoboza Ab’olugave nebabambaza Kabaka eddiba ly’engo.
24. Waliwo omuzira mu bazira eyalya essaza, yaani yalya ssaza ki? – Kkangaawo Ronald Mulondo yalya essaza Bulemeezi.
25. Omuganda omuntu gwayita Ow’ekinnembe yaaba atya? – Ye muntu omukulu ng’alina ekitiibwa.
26. Olugero: Ssegulira emmandwa etuule, – nga byeyamulagula byatuukirira.
27. Ekitooke kyebayita eky’enkago kyekitya? – Ekitooke kyonna ekivaako emmere.
28. Mu killo meter 8 mubaamu mmayiro mmeka? – 5
29. Lubaale bwakusaba ekintu nga tokirinaawo, oyinza okukimusuubiza, ekisuubizo ekyo kiweebwa linnya ki? – Ekirinda.
30. Abalima kasooli bamusimba mu nnyiriri, lwaki? – Okwanguyirwa okumukoola, n’okufuna amabanga wassiza obulungi.
31. Tuweeyo emizizo ebiri egidda ku butiko obubaala nga babukuula? – Tebuggyibwa omu, Tekayitwako.
32. Omwaka ssekabaka Mwanga II mweyasinga okuttira abajulizi abangi? – 1886
33. Olugero: Maddu ga ddenge.- Ofuuwa bwokomba.
34. Omwami ono yali mukuza wa Kabaka Daudi Cchwa II ate nga mulamuzi, yaani? – Stanslas Mugwanya.
35. Ekisoko: Okuweta ku mpiima kitegeeza ki? – Okuddiriza ku busungu.
36. Omuti ogusooka wansi nga babajja eryato ery’okumazzi liweebwa linnya ki? – Omugongo.
37. Emizizo ebiri egidda ku muziziko ogubeera mu ffumbiro ly’omuganda. – Tegutuulwako, era tugufumbisibwa.
38. Erinnya eddala ery’enswa eziyitibwa muzinge – Entenga.
39. Kabaka Byomere, tuwe erinnya lye erisinga Okumanyibwa? – Kimera.
40. Enkoko omuganda gyayita akatema nkonge yeetya? – Akawanga akaakundugga.
41. Edda abaganda entalo zaabaleeteranga okudduka ku byalo, ekikolwa ekyo kiweebwa linnya ki? – Okuwunga.
42. Olugero: Omuzira ateekengera – Olutabaalo awangula lumu.
43. Tuweeyo obulombolombo bubiri obudda ku lubuga. – Ateekwa okuba ow’ekika kimu n’oyo gwasikira, N’olubugo atuulako lutuule.
44. Ekisoko: Okulaba mu ly’omweso kitegeeza ki? – Kwekubeera ng’olina ekintu kyo kyewatese awantu n’osanga nga bakibbyewo.
45. Mu Buganda mulimu essaza ery’emmanju, lyeririwa? – Kyaggwe.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K