Olumeggana olw’omutendera ogw’okubiri olunaku olw’okubiri mu program Entanda ya Buganda nga 07 November,2023 abamegganyi Kalyango Faruk eyafunye obugoba 19 ne Kizito Innocent eyafunye obugoba 16 basuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Ssebucu Ivan eyafunye obugoba 14 n’awanduka.
Bino bye bibuuzo by’Entanda ebyababuuziddwa
1. Olugero: Eby’okuwa bifa busa – Abanaawa baasuuza bbaabwe.
2. Mu ssaza Ssingo mulimu ennyanja, nnyanja ki? – Wamala
3. Tuwe ekibiina ky’eddiini ekyasookera ddala okufulumya olupapula lw’amawulire – Church Missionaries Society.
4. Olusozi Mulago, Kabaka Kamaanya kweyasooka okukuba ekibuga kye, kyali kiyitibwa kitya? – Butakabukirwa
5. Okubyangatana ng’anyiza ajjula kisoko, kitegeeza ki? – Okukola ebintu ebitalina makulu
6. Ani yawandiika ekitabo Amazina ga Nnakkwale? – Grace Ssemakula Ndugwa
7. Ssentensi eno mu luganda olutuufu, Ensonga lwaki nzize kwekukulabako – Ensonga endeese kukulabako
8. Tuweeyo ebintu bibiri omuwakuzi w’enjuki byeyeetaaga mu mulimu ogwo – Yetaaga essanja n’omuliro
9. Olugero: Anaatuubya engo – embuzi asiba ku luzibaziba
10. Mu ssaza Buluuli mulimu ennyanja, nnyanja ki? – Kyoga
11. Olupapula lw’amawulire olwasookera ddala mu Buganda lwali luyitibwa linnya ki? – Mengo Notice
12. Ekibuga kya Kabaka Ssuuna II bwekyali tekinnafuna lya Wamala kyali kiyitibwa kitya? – Wammunnyeenye
13. Tuwe amakulu g’ekisoko, okubuzaako omuntu embiibya – Okubuza omuntu emirembe
14. Ani yawandiika ekitabo Munna Uganda mu buwanganguse – Dr. Samson Kisekka
15. Tereeza ssentensi mu luganda olutuufu – Tubuulire wa gyogenda – Tubuulire gyogenda
16. Tuwe emigaso ebiri egy’enjuki eri omuganda – Ziyamba mu kuwakisa ebimera ate n’okufunamu omubisi
17. Olugero: Ssebuguzi bwa nnume – tebubulako nteera
18. Mu Buddu mulimu ennyanja, nnyanja ki? – Nnalubaale
19. Tuwe omwaka omwafulumira olupapula lw’amawulire olwasookera ddala – 1901
20. Amasiro ga Kabaka Muteesa I gasangibwa Kasubi Nnabulagala, ekifo kyayitibwanga kitya? – Nnabulagala
21. Tuwe amakulu g’ekisoko, Okwekola omuntu – Okwenyumiriza mu muntu mu ngeri emusiima
22. Ani yawandiika ekitabo Amateeka g’Oluganda amafuuzi? – Prof Livingston Walusimbi
23. Yabalaze ekifo wa weyamusanga, tereeza sentensi eno – Yabalaze weyamusanga
24. Tuweeyo abalabe b’enjuki ba mirundi ebiri – Omuntu, n’ebiwuka ebirala ebizirya
25. Omulangira Kimera bweyali e Kibulala yasuulibwa mu lusenyi azaayireyo, luyitibwa lutya? – Kigoyo
26. Okuwaamu omuntu eky’omuwemba kisoko kitegeeza ki? – Omuntu okumukuba oluyi olunene
27. Waliwo ekika ky’omutuba gwebayita Mpolembuzi, lwaki baaguwa erinnya eryo? – Kubanga bwebagukomaga gwanguwa okuvaamu olubugo, gulama
28. Olugero: Gyebanzaalira mmanyiiyo – Ng’aliko nnyina eyamulagayo
29. Mu lulimu oludda ku lusuku mulimu kyebayita akakongoowe, kyeki? – Ettooke eryengeredde ku mugogo nerikunkumuka neriggwako
30. Waliwo amayinja agatonderwamu ebyuma mu nda waago, tugayita tutya? – Amatale
31. Tuwe amannya g’omukubiriza wa Program Entanda Diaspora – James Mugga
32. Ekyayi ekisibwa mu ntobo y’ettu ly’emmwanyi kiweebwa linnya ki? – Omugomba
33. Emibugirizo egibeera mu mulyango gw’enju y’Omuganda giweebwa linnya ki? – Emifuubeeto
34. Obutaka bw’omutaka Kasujju Lubinga buli luddawa? – Ttamu ssingo
35. Olugero: Omusajja tabula – Olaba abuze nga batta mutte
36. Erinnya abavubi lyebawa amagi g’engege – Obusowe
37. Mu lulimi oludda ku balimi mulimu ekigambo entemera, kitegeeza ki? – Olusuku olunyirira naye nga teruvaamu mmere
38. Tuweeyo amannya g’Abalangira babiri abaazaalibwa omuzaana Namutebi abaalya obwakabaka – Kabaka Mutebi I ne Kabaka Jjuuko
39. Waliwo taba omuganda gwayita akaduudu, aba afaanana atya? – Aba akulungiddwa obulungi ateekebwe mu mmindi
40. Zaakudda okunywa, baba bategeeza ki? – Enkalu
41. Olugero: Kiruyi kya muzaana – kiggwera ku mmere
42. Olubugo Olwomunagiro olusumikibwa Kabaka luva ku mutuba ki? – Butana
43. Ebiryo by’ensujju bwebisiikibwa biweebwa linnya ki? – Enteetere
44. Ejjinja eriyitibwa Migadde lyaba kika ki? – Lugave
45. Omuganda alwanyisa atya ensekere mu nviiri z’abaana be? – Azimwako enviiri nazitwala mu lusuku n’azifugika eyo
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K