Abamegganyi Miyingo Misach eyafunye obugoba 17 ne Bugembe Nasuru eyafunye obugoba 14 baasuumusiddwa okugenda mu lumeggana oluddirira olw’ekitundu ekyokuna, ate Muwonge Erick eyafunye obugoba 11 yawanduse.
Biibino ebibuuzo by’entanda nga 05 November,2023.
1. Ba Kabaka ba Buganda babiri abaakisiza omukono mu buwanganguse – Ssekabaka Muteesa II ne Mwanga II
2. Amannya ga Chansala wa Muteesa I royal University – Ssaabasajja Kabaka
3. Amakulu g’ekisoko Ekintu okumalako abantu enviiri ku mutwe – Ekintu ekyewuunyisa era nga kiwuniikiriza nga kibi
4. Ani yawandiika ekitabo Kalimagezi Omuzirakisa? – Fr. FX Mbaziira
5. Nkalye nkawulire asula teyeebase, Olugero olwo lutuyigiriza ki? – Tuyigiriza okubeera abegendereza kubanga ebimu ate biyinza okutuviiramu ebizibu
6. Kabaka bwaba agenda okukuba ekibuga, mutaka ki atema evvuunike? – Omutaka Namuguzi
7. Omwezi Kabaka mweyakubira Enkamu gumala ennaku mmeka? – 31
8. Omuti oguyitibwa omuvule gusobola okwetegekera ekiseera ekyekyeya, gukikola gutya? – Guwaatula
9. Mpa ba Kabaka ba Buganda abaava mu Bwabakaba ate oluvannyuma nebabuddako? – Kabaka Mwanga II ne Kabaka Kiggala
10. Ku lusozi Mengo edda kwabangako ekizimbe edda kyabaayitanga Bulange Plaza, kati kiyitibwa kitya? – Masengere
11. Okuttira omuntu ku liiso, kisoko, kitegeeza ki? – Okusonyiwa omuntu olw’ensobi gyaba akoze
12. Olugero, lutuyigiriza ki? Kaami katono okanyoonera mitala wa mugga – Obutanyooma mukulembeze yenna olw’endabika ye
13. Omutaka Ssendyona yeyawalanga amaliba g’ensolo abajja ne Kimera zebattanga, Ssendyona yeddira ki? – Nkerebwe
14. Ommwezi Ssaabasajja Kabaka RM Mutebi II mweyatikkirirwa gumala ennaku mmeka? – 31
15. Omuti gwebayita kibeere, gwetangira gutya abalabe baagwo? – Gubaako amaggwa
16. Waliwo obunyonyi Omuganda bwayita obugugumusi, bwebutya? – Obunyonyi obutono ennyo obutambulira mu kibinja, nga bugugumuka omulundi gumu
17. Mu ba Kabaka ba Buganda mulimu eyali Omujungute, yaani? – Ssekabaka Kalema
18. Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyali ajaguza emyaka 60 egyobukulubwe Obuganda bwamutonera ki? – Baamutonera ekizimbe Masengere
19. Ekisoko Okusalirira omuntu olunywa kirina makulu ki? – Okukotoggera omuntu
20. Ani yawandiika ekitabo Obuwoomi bw’ekitontome? – Ssali Damscus
21. Ekyokuyiga ekiri mu lugero, Aweeka atali wuwe aweeka asoosootoka – Tusaana okwegendereza betulekera ebintu byaffe
22. Kika ki ekirina omulimu gwokutema emiti mu lubiri? – Nseenene
23. Omwezi Kabaka Ronald Mutebi Mutebi II mweyazaalirwa gumala ennaku mmeka? 30
24. Mu ddiiro ly’omuganda mulimu ekifo ateenenya kyekiriwa? Ekifo nnyinimu waatuula
25. Abaganda ababeera mu ssasa nga bafukuta ebyuma balina ebigambo byeboogeza omuliro, byebiriwa? – Salako salako salako
26. Omwezi ogw’okuggulu ogwo nagwo gukula negukaddiwa, omwezi omukadde Omuganda yaguwa linnya ki? Eggabogabo
27. Olugero: Kabaka Nnyondo – Ekussa buzito
28. Omuti oguyitibwa omuwafu guvaako ensigo, ziyitibwa zitya? – Enje
29. Okufukamiza ensozi kisoko kitegeeza ki? – Okuba n’amaanyi okusinga abalala
30. Omutuba oguyitibwa enteesa ogwawula otya amangu okuva ku mituba emirala? – Guba n’embuga ngazi
31. Olugero: Baatwaya dda – Abejjereza omunyago
32. Omuganda alina endeku gyayita eyenkooba, eba etya? – Endeku entono
33. Mu lulimi oludda ku mmere mulimu ekigambo Essinzi, kitegeeza ki? Ekkobe erigudde wansi nerimera
34. Ekivuga ky’omuganda ekiyitibwa ensaasi kikolebwa mu bintu bibiri eby’ennono, bituwe – Endeku y’engunda nebateekamu amalanga
35. Omuzizi w’ensolo bwakugamba nti yazize lunywa mazzi aba ategeeza ki? Nti aba yazize njobe
36. Engeri bbiri omukazi Omuganda zaayinza okumanyiramu nti mu maaso awo ayinza okuzaala abalongo – Okuzaala kasowole oba bwalaba nnamagoye ng’ali lubuto
37. Ekisoko Okubaamu ak’omunku kitegeeza ki? – Okubaamu n’emize
38. Omuti gwebayita emmimbiri gwetangira gutya abalabe – Gwabutwa gwennyini
39. Engeri bbiri Omuganda mwayita okwejjanjaba ng’akozesa obutonde – Ebikoola ku ttale n’okweyoteza
40. Akawoowo akava mu mmwanyi enfube kaweebwa linnya ki? – Akanyale
41. Olugero: Omukazi akunoba n’atakulaasa
42. Edda essaza Busiro lyafugibwa nga mu nsikirano, ayafunga yaweebwanga linnya ki? – Mugema
43. Enva ezifumbiddwa mu nkagga Omuganda yaziwa linnya ki? – Ebisoboli
44. Omuddo ogw’entooma gwegufaanana gutya? – Omuddo ogumera mu luyiira bweguba gukyali muto.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo. K