Mu Ntanda ya Buganda eya nga 19 October,2023 abamegganyi Kasagga Robert eyafunye obugoba 25 ne Ssebucu Ivan eyafunye 22 baayiseewo okugenda mu lumeggana oluddako, ate Ssekatawa Cyprus eyafunye 11 yawanduso
Biibino ebibuuzo
1. Okuwema kyekimu ku bika by’endya ya Abaganda, tuweeyo ekika ky’emmere kimu ekiwemwa – ntungo
2. Tuweeyo ba Kabaka babiri abalya Obuganda oluvannyuma lw’okumala ebbanga nga Buganda terina Kabaka Kabaka Kimera ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
3. Owanja kitegeeza ki mu lulimi lw’abalunnyanja? – Ekifo webaanika mukene.
4. Omukazi afiiriddwako bba aweebwa eriinya Nnamwandu, abaffe omwandu kye ki? – Omwandu by’ebintu omusajja byaleka ng’afudde.
5. Olugero: Akabimbi akatono – kakira ekyosi.
6. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri akigambo okusowola. – Okutuula n’ofulumya akakokola mu mmotoka, N’ensolo singa evaamu eggwako.
7. Ku mulembe guno Omutebi waliwo ekintu ekikolebwa nga kitumbula obutonde bwensi, kyekiriwa? – Omuko atwala omuti gy’ayanjulwa negusimbibwa.
8. Obupiira kalimpitawa buyinza obutataasa muntu okukwatibwa mukenenya, tuweeyo embeera bbiri kino kwekiyinza okuva – Ssinga kakuyulikako ng’okasumulula, Ssinga omuntu aba tateeteese bulungi munne, kayinza era okwabika.
9. Omuganda akozesa atya ekyoto kye okulaba ng’ebirime bye bikuumibwa bulungi? – Afunamu evvu lyakozesa okutta ebiwuka ku birime.
10. Bendera ya Uganda eriko ebiba bimeka? – Mukaaga.
11. Kizira omussi w’enswa ezibuuka ekiro okugenda emabega w’ekiswa ekyo, makulu ki agali mu muzizo ogwo? – Okwewala ebisolo eby’obulabe ebisobola okukutuusaako obulabe.
12. Omuganda yeetangira atya obulwadde obuleetebwa enswera ng’ayita mu nnono ze? – Okulongoosa w’abeera n’okubikkanga ku mmere.
13. Amakulu g’omuko okutwala omwenge mu lumbe lw’omukulu azaala mukazi we – Kweyanjula eri omusika n’okwongera okumulaga nti obuko bukyaliwo.
14. Mu biseera nga ssabbuuni tannabuna bulungi mu Buganda, baakozesanga ki okwoza engoye zaabwe? – Ebikoola by’amapaapaali.
15. Minisita wa Kabaka akola ku nnono, obuwangwa, amasiro, embiri – Owek. Dr. Anthony Wamala.
16. Olugero: Ofunda n’omuliika – naanunula abaana.
17. Tuwe ekisoko ekiri mu mubala gw’abeddira enjobe ekigendererwamu okutaasa omuziro gwabwe okutuusibwako obulabe – Dduka olukalu okwate omugga.
18. Bwokubira omuntu atakumanyi essimu, osookera ku ki? – Osookera kweyanjula linnyalyo.
19. Tuweeyo embeera bbiri zokka nga mukamwana tadduka ssezaalawe? – Ku mukolo ogw’okumala abalongo ne bwaba amukwasa omwana okutuumwa erinnya.
20. Olubugo olusooka okuggyibwa ku mutuba luweebwa linnya ki? – Nnassubula.
21. Tuwe obukulu bw’amazzi ng’ekyobuwangwa eri Omuganda Omuntu akyadde aweebwa ku lwendo lw’amazzi n’okweyambisibwa mu kufumba.
22. Bwekiba nga kiseera kya kyeya Omuganda asobola okuteebereza nti enkuba enaatera okutonnya, Omuganda ekyo akiraba atya? – Alabira ku bire ebiddugavu ebikutte n’okulaba empewo ekuntu ng’eva ku nnyanja.
23. Mu nnono y’Omuganda waliwo enkola ekozesebwa okulaba ng’ebyennyanja tebiggwa mu nnyanja, tuweeyo emu? – Tebavubira webizaalira, era waliwo n’ebitundu ebitavubirwamu ng’ebuziba.
24. N’enkumbi ebeera n’ekiwato, ekiwato ky’enkumbi kyekiriwa? – Akati akawanga enkumbi.
25. Tuweeyo erinnya eriweebwa omutwe gw’omuntu omunafu ennyo nga kuliko n’olugero olusonge? – Kagubiiru oba Kawulungumi.
26. Kabaka bwaba alya Obuganda waliwo Omulangira asikira empewo, yaani? – Juma Katebe.
27. Omukazi bwaba awaata ayinza okumanya nti anaalya ku kanyama, ekyo akitegeera atya? – Ssinga ettooke lyeyasaamu.
28. Omutaka Kakinda e Jjalamba akomaga olubugo olusumikwa Kabaka ng’alya Obwakabaka, Olubugo olwo luyitibwa lutya? – Bigwawo tebimala.
29. Olugero: Ensi mabuliro, Omugole abulira mu kisenge.
30. Lubaale Walumbe alina erinnya eddala erimuweebwa, lyeririwa? – Kabaka Bulamu.
31. Okutta obugenyi kisoko, kitegeeza ki? – Kitegeeza nti bwoba okyadde baakutegekedde bulungi obugenyi.
32. Tunnyonnyole Omuganda gyayita enkwekwe? – Y’enkoko erina ebigulu ebimpi.
33. Olugero: Entujjo ennungi, ekusanga nagalwayi.
34. Mu lulimi oludda ku lusuku mulimu ekitooke okukookolima, kyeki? – Kyekitooke okukala olulimi.
35. Tuweeyo ensonga enkulu bbiri ezireetera Omuganda okumaala mu nju ye n’obusa? – Okwetangira envunza n’okugobamu enfuufu.
36. Omuganda bwaba aweesa aliko obuti bwakwata omuliro gusobole okwengereza obulungi byaweesa? – Emirindi.
37. Tuweeyo amannya abiri agaweebwa Kabaka afudde? – Ssekabaka oba Kabaka.
38. Ekikolwa ekyokujja engogo mu lusuku ng’abwozaalirira kiweebwa linnya ki? – Kuwoolera.
39. Omuntu bwagamba nti kano kasandali otegeera ki? – Buzibu.
40. Olugero: Lubaale agoba nsonga – Nga tasse wuwo.
41. Nnamwandu ye mukazi afiiri ddwa bba, olwo omukazi alina bba ayitibwa atya? – Omukyala omufumbo.
42. Tuweeyo embeera bbiri omumbejja mwayinza okuyitibwa Nnaalinnya? – Ssinga aba abusikidde, nooyo asika ne Kabaka.
43. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo amabeere – Agabeera ku kifuba naago Nnamasole gatwalira Kabaka mu lubiri.
44. Bwoleeta enkoko engenyi awaka ogisookeza mu njuyo, ekyo kigendererwamu ki? – Ereme kubula.
45. Okukoowoola abombye kisoko, kitegeeza ki – kumala biseera.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K