Mu program Entanda ya Buganda eya nga 23 October,2023, abamegganyi Nanteza Grace eyafunye obugoba 24 ne Kafeero Paul eyafunye obugoba 17 baasuumusiddwa okweyongerayo ku mutendera oguddako, ate Kafuuma Abdul Kareem eyafunye obugoba 14 yawanduse.
Bino by’ebibuuzo eby’ababuuziddwa:
1. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekibondo – Ekyenkukunyi n’ekyenvunza.
2. Tuweeyo omuzizo ogwekuusa ku kiyungu nga gugenderera okutangira obusambattuko mu maka – Omukazi takubirwa mu ffumbiro.
3. Tuwe erinnya lya Omulongo wa Kabaka Kateregga – Waziba.
4. Olugero: Gunzise mu vvi – Nga yeyamwezaalira.
5. Tuwe erinnya ly’omuwandiisi w’ekitabo Ebika bya Abaganda mu bitontome – Rev Fr. FX Mbaziira.
6. Erinnya ly’omumyuka w’omukubiriza wa Parliament ya Uganda – Rt. Hon Thomas Tayebwa.
7. Tuwe erinnya ly’ensi Iddi Amiin gyeyafiira – Saudi Arabia.
8. Omuntu akazibwako erinnya Bukedde yaaba atya? – Ye mwana aba alwala ennyo.
9. Tuwe amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo okusigula – Omusajja okusendasenda omukyala omufumbo n’okusigula enkonge.
10. Okuwasa mpisa nkulu nnyo mu Buganda, tuweeyo omuzizo ogwekuusa ku kiyungu n’omwana omulenzi – Omulenzi tatuula ku ssiga.
11. Omulongo wa Kabaka Ssekamaanya – Nnomerwa.
12. Olugero: Asamirira amaddu – ayigga mbogo.
13. Ani yawandiika ekitabo “Aboluganda ab’enda emu? – Hugo Barrow Ssematimba.
14. Tuwe erinnya ly’omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Parliament – Hon Mathias Mpuuga Nsamba.
15. Iddi Amiini Daada yafa mu mwaka ki? – 2003
16. Omuntu gwebakazaako erya Bindacalaca yaafaanana atya? – Ye muntu ateesigika ataliimu mazima wadde.
17. Amakulu g’ekigambo okuweerera. – Okuweerera embwa n’omwana ku ssomero.
18. Omuziziko mu ffumbiro ly’omuganda gweguliwa? – Omuti okwawula gyebafumbira negyebatuula.
19. Omulongo wa Kabaka Kagulu yali ayitibwa atya? – Kyafubutuka.
20. Olugero: Balubuuliza mbazzi nga luli ku muddo lugaaya.
21. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebyamakulu? – EKN Kawere.
22. Tuwe erinnya lya nnampala w’ababaka ba FDC – Hon Yusufu Nsimbi.
23. Eggye eryawamba Iddi Amiini lyasinziira mu nsi ki? – Tanzania.
24. Omuntu Byekwaso aba wa ngeri ki? – Omuntu aba azaaliddwa naye nga banne bonna bazze bafa.
25. Ekigambo Bweza kikozesebwa ddi? – Kikozesebwa mu kukulisa azadde abalongo.
26. Olugero: Atamanyi bifa ku mwoyo gwa munne – Enkumbi afulumya bbiri.
27. Kizira okufuma emisana, bwokikola oba ki? – Ozaawa.
28. Kabaka omwana omulenzi gwasooka okuzaala aweebwa linnya ki? – Kiweewa.
29. Olugero: Balunaayiza, – Ng’owembaliga anaayiza omusulo.
30. Olukiiko olwateesa n’okuyisa ssemateeka wa Uganda lwali luyitibwa CA, Kirambulule. Constituent Assembly.
31. Tuwe amannya abiri ag’omuzaana nga wa Ngo eyayatiikirira ennyo ku mulembe gwa Ssekabaka Nnakibinge – Nnannono ne Nabulya.
32. Enjuki yansiiyiise omulundi gumu be – jjwi.
33. Tuweeyo ekisoko kimu ekitegeeza okunywa omwenge. – Okukongojja omulangira Ssegamwenge.
34. Kyamuzizo okulya kasooli eyeetuze, ddi lwokkirizibwa okumulya? – Ssinga bazaddebo bombi baba nga baafa.
35. Ekifo kyebayita Bigobyamugenyi kisangibwa mu ssaza ki? – Mawogola.
36. Emizizo ebiri egidda ku lubuga. Tasumikibwa nga basajja era bwaba olubuto, – olubugo atuulako lutuule.
37. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okukwata mu ly’empiki. – Obutafuna kyobadde oyagala.
38. Olugero: Kyoyagala tekijja gyoli, – Nnabuzaana akwata munyoro.
39. Kasooli bwoba omususa neyeemenyamu tebamulya, aweebwa ebibonerezo bibiri, byebiriwa? – Akasukibwa mu luggya,Enkoko zimubojjogola.
40. Akagoye kebeeyambisa okusiba emba z’omufu, omuganda akawa linnya ki? – Akagatta nsaya.
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K