Omutendera gwa Program Entanda ya Buganda Kakongola-zziga omuva abazira abattunkira mu maaso ga Ssaabasajja mu Lubiri gutandise na maanyi.
Okwawukanako n’emirundi egiyise, ku mutendera guno, abamegganyi bana bebajja mu studio olwo nekuwandukako babiri, ababiri nebafuuka abazira.
Mu kiro ekikeesezza olwaleero, Kiberu Kizito Kamya eyafunye obubonero 22 ne Nnassiwa Prossy omukyala yekka akyali mu lwokaano eyafunye obugoba 12 beesozze olubiri, bakuttunka nga 31 December mu Nkuuka.
Ssegawa Kisomose James eyafunye 10 ne Ndawula Patrick ataafunyeyo kagoba bawanduse.
Biibino ebibuuzo bya Kakongola-zziga;
1. Emirundi mingi ebirungi bwebimala okuyita abantu bangi baba tebajjukira, tuweeyo olugero olugya mu mbeera eyo? -Oguggwa teguba muka
2. Emigaso gy’ekiswa ekyafuluka egy’ennono – Kifugikibwamu abalongo, n’okuvaako ettaka erikuuma emmere obutayonooneka
3. Waliwo Kabaka wa Buganda abantu gwebaali baapaatiikako erinnya, “Kyali Kisolo” Kabaka oyo yaani? -Kabaka Mwanga II
4. Okusiba omuntu ekimyu, kisoko, kitegeeza ki? – Okugumya omuntu ng’ali mu buzibu
5. Ani yawandiika ekitabo, Soma oyige? – Fr. FX Mbaziira
6. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo eddaala – Eririnnyibwako nga tulina kyetwetaaga wagguluu, n’omutendera gw’okukuzibwa naddala ku mulimu
7. Abantu abalina empisa oluusi bayinza okuzaala abaana abatazirina, tuweeyo olugero olugya mu mbeera eyo? – Embwa enjizzi ezaala enkolya
8. Enjawulo mu bigambo okummula n’okusala ng’obyesigamizza ku mulimu gw’okutta enswa – Okusala kitegeeza ekiswa okulaga nti zigenda kubuuka ate okummula ky’ekiseera enkuyege lweziddamu okussaako ettaka emmpya ku kiswa
9. Kabaka ono abantu baamuyitanga Kabaka omulungo,yaani? – Ssekabaka Dawudi Chwa II
10. Okunyookeza omuntu eggumba kisoko, kitegeeza ki? – Okubuzaako omuntu emirembe
11. Ani yawandiika ekitabo, Bemba Musota? – Elly Nathan Kyeyune
12. Amakulu g’ekigambo empeta. – Eyambalwa ku ngalo n’ebinunko byomungalo
13. Abantu abamu balina emitima emibi, tebaagala kuyamba banganda zaabwe wadde nga balina obusobozi, tuweeyo olugero oluja mu mbeera eyo – Nkuba teyaza kyayo ssinga ekitoogo ky’omukajjansi bakitemya mbazzi
14. Amakulu g’ebigambo, Okukuyenga n’olwataata –
Olwataata lyeriiso ly’ekiswa ekisejjere ate okukuyenga kyekikolwa kyokuggya ebyoya ku nswa
15. Nnaku za Leero, yali Kabaka ani – Kabaka Mwanga II
16. Okujuliza ataliiwo kisoko, kitegeeza ki? – Okumma omuntu ekintu ng’ate okirina
17. Ani yawandiika ekitabo Enkuluze y’eddiini y’Abaganda ey’ennono – JC Ssekamwa
18. Ekigambo katiko, tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri – Ekika ky’omusumaali n’akatika akaliibwa
19. Abantu abamu bwebafuna obugagga beerabira bannaabwe bwebaali mu bunaku, tuweeyo olugero – Abatuuka beerabira abaabatuusa
20. Amakulu g’ebigambo, Kaamukungube n’akabooya – Kaamukungube kyekiswa ekibeera mu kyererezi ate akabooya kyekisolo kyonna ekibeera emabega w’ekiswa nga mugenze okutta enswa
21. Waliwo Kabaka abantu gwebaatuuma erinnya Kabirinnage, kabaka ani? – Ssuuna II
22. Okutema omuntu mu nvuba kisoko, kitegeeza ki? – Okuyamba omuntu okumuggya mu buzibu
23. Ani yawandiika ekitabo Ebitontome ebyamakulu? – KN Kawere
24. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo empingu – Abaserikale zebasiba ku bazzi b’emisango n’emaato ga Kabaka Gabunga gyaduumira
25. Amaato gebayiisizaamu omwenge omuganda nago agatuuma amannya, ennono yentuuma yaago egamba etya? – Bagatuuma okusinziira ku kika kya nnyini lyato
26. Ekyuma eky’ennono Omuganda kyeyeeyambisa okuwummula ekituli mu muti akiyita atya? – Omulumyo
27. Batugamba mbu ennyanja ya Kabaka e Mengo yasenguka ko, mu mwaka ki? – 1953
28. Omukulu tebamusikira kuvuga – bamusikira kubalira
29. Okuwangukira mu lutabaalo, kitegeeza ki? – Okwewaayo mu mikono gy’omulabe wo
30. Bbanda balogo linnya, bwoliwulira otegeera ki? – Omuntu atalogeka
31. Lwaki emmere ey’omuttaka Omuganda yagiwa erinnya Bikalubitaaka? – Kubanga bwebaba bagirya tebagikoza mu nva
32. Ssekabaka Muteesa I yayagala nnyo okuweesa n’okukomaga, ekifo kyeyassa mu lubiri lwe yakiwa linnya ki? – Ndiwulira
33. Waliwo Omuntu Omuganda gweyatuuma Nnakafuga, omuntu oyo aba atya? – Omukazi afuga bba
34. Omuganda tagamba nti emmindi ekutte omuliro, agamba atya? – Agamba nti emmindi ekolaanye
35. Olugero: Awali akaloka – Embuzi wezza omumwa
36. Essaba mu lulimi oludda ku bayizzi kitegeeza ki? – Obuwuufu embwa mweziyita nga zigoba ekisolo
37. Ssinga mukwano gwo akutwala ewa kagutunda, n’owulira ng’agamba nto Oyo muwe kiwuduwudu? – Aba agamba bakuwe omwenge ogutajjudde
38. Okusuula ebiwottonono, kisoko kitegeeza ki? – Ekikolwa ky’okugaggawala neweerabira banno bwemwalaba ennaku
39. Omuboga gwebayita ogwa ssumbwe guba gutya? – Omuboga oguba n’ekikuta ekigumu ennyo
40. Olugero: Ebitono biggwa byokya – Omukazi tabegera bba busera
41. Mu bufuzi bwa Buganda obwennono, omumyuka wa Ssekiboobo aweebwa linnya ki? – Nnamutwe
42. Omukomago gunywera na mpano, empano kyeki? – Ebikondo ebikubwa ebbali nebbali waagwo.
43. Ennyama y’ente Omuganda gyayita enkacappa, eba etya? – Ennyama y’ente enkapa ennyo ngate era ekaluba nnyo mu kugifumba
44. Ekyennyanja ekiyitibwa Ndiibwa baganzi kimannyiddwa na linnya ki eddala? – Ekisinja
45. Olugero: Mimwa etoloba – Ng’ageya bwebajja
46. Omututubiko mu lulimi lw’abayiisa kitegeeza ki? – Olwendo olweyambisibwa okusena omwenge mu lyato nga basengejja
47. Ebintu bibiri eby’ennono ebyeyambisibwa mu kukola olugali – Olukomakoma ne Ejjerengesa
48. Omuganda talina kintu kyataatuuma linnya, Omuganda ejjuba ekkazi yalituuma linnya ki? – Maawe
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K