Program Entanda ya Buganda eri ku lumeggana olw’omutendera ogw’okubiri.
Abamegganyi Kabali Fred eyafunye obugoba 22 ne Kalule Godfrey eyafunye obugoba 17 bayiseewo okweyongerayo ku mutendera oguddako ate Kafeero Paul yawanduse n’obugoba 13.
Biibino ebibuuzo by’Entanda eby’ababuuziddwa nga 06 November,2023.
1. Olugero: Lutumaze – Enkoko esula ku luwe.
2. Abayizzi balina ekigambo embegoobego, embegoobego kye ki? – Ensigo z’omusu.
3. Tuwe omwaka ekibuga Kampala mwekyasusibwa okuva e Kampala mukadde okudda e Nakasero – 1905
4. Tuwe obutaka obukulu obw’abekika ky’abaeddira Enkula. – Lwentugga
5. Tuwe amakulu g’ekisoko Okutuuyana nga bwezikala – Okusoberwa olw’ebizibu ebingi
6. Tuweeyo amakulu g’ekigambo Okuwanga ga mirundi ebiri – Okuwanga ejjembe n’okuwanga enkumbi
7. Tuwe amannya ag’obuntu ag’omwami atwala essaza omusangibwa omuti Nakayima – Luweekula Immaculate Nantaayi Kafeero
8. Tuweeyo omuzizo gumu omukulu ogudda ku ntungo – Tezirimwa mu lubiri
9. Olugero: Ssebugenyi bwansanafu – gwezizinda teyeebaka
10. Mu buyizzi mulimu ekigambo Omubeziibezi, kyeki? – Omuntu eyetikka ensolo okuva wettiddwa okugituusa webanaagibaagira
11. Bank eyasookera ddala mu Buganda yakolebwa mu mwaka ki? – 1906
12. Tuwe obutaka obukulu obwabekika ky’abeddira Enkusu – Naminage
13. Ekisoko Okulumika ebisenge kitegeeza ki? – Omuntu awuliriza ebitamukwatako naddala n’abiwuliriza bbali newankubadde biba tebimukwatako
14. Tuweeyo enjawulo ya mirundi ebiri mu kigambo Ekisibo – Ekifo embuzi mwezisula n’embuzi ennyingi
15. Amannya g’obuntu ag’omwami atwala essaza omuli Ennyumba Muzibwazaalampanga – Kaggo Ssaalongo Ahmed Magandaazi
16. Ekikolwa ky’abaana abato okuzannyira mu ntungo oluvannyuma lw’okusimba kiweebwa linnya ki? – Okusera entungo.
17. Olugero: Ndwadde ekula kiro.- y’aziika omuliro
18. Engombe efuuyibwa abayizzi nga bava okuyigga eyitibwa etya? – Kolokota ensaka.
19. Emmotoka eyasookera ddala wano mu Buganda yajja ddi? – 1909
20. Obutaka obukulu obw’ekika ky’Ababoobi kisangibwa wa? – Kajuna
21. Ekisoko okutuuza omuntu mu ddagala kitegeeza ki? – Okumulimbalimba ng’olina kyoyagala okumuggyako
22. Tuweeyo amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Okumera, Ekijanjaalo kimera okuva mu ttaka, n’enviira singa ziba zisaliddwa mu mbeera y’okuddamu kuyitibwa okumera
23. Tuwe amannya g’obuntu ag’omwami atwala essaza omusangibwa ekibira Mabira – Ssekiboobo Elijah Boogere
24. Bwosanga omuntu akoola entungo omwebaza nti weekombe, ko ye? – Nti kibya
25. Omuganda tagamba nti akawompo k’omwana kakuba, agamba atya? – Agamba nti kalasa
26. Ekisoko: okugenda okukuuma obuyindiyindi kitegeeza ki? – Kufa
27. Ekkobe eddene obulungi nga linyirivu Omuganda aliyita atya? – Nakatudde
28. Mu mannya g’abamasaza mulimu eryava mu kutumira nti balekere awo okulwana yaani? – Kkangaawo
29. Olugero: Endwadde y’omukwano – Busobya
30. Tuwe erinnya ly’omukubiriza wa Program Gakuweebwamunno ku cbs 88.8 – Henry Mpinga Ssempijja
31. Akanyonyi k’ennagenze okukwata kantoloseeko omulundi gumu be – Ppulu
32. Ekikolwa ky’okulongoosa ekita mu nda oggyemu ebiryo kiweebwa linnya ki? – Okulyowa
33. Mutere w’Omuganda ow’ennono aggyibwa mu ki? – Mu mbidde Enganda
34. Olugero: Bwolaba omukulu asoose ekito – Nga taagabe
35. Omukazi bw’afiirwa bba yeesiba n’anywera ekyo kyeyeesiba kiweebwa linnya ki? – Kibugo
36. Okuwerekera Mpinga mu kibira kisoko, kitegeeza ki – Kwereetera bizibu
37. Kasowole awanuuzibwako ki? – Y’alanga okuzaalibwa kw’abalongo
38. Mu buvubi mulimu ekigambo amabibi, kitegeeza ki? – Ze mpewo ezikuba nga ziva emabbali
39. Mbuulira erinnya eriweebwa ensolo nga bweba etemya abagibeera okumpi bakuwulira? – Kikami
40. Okunaga kye ki mu byennyambala? – Okwesuulira
41. Olugero: Mbuzi nzadde – tegererwa kisibo
42. Tuweeyo amannya amalala abiri g’oyinza okuwa obulwadde bw’olukusense? – Mulangira ne Oluseru
43. Mu lulimi oludda ku nswa mulimu ekigambo ekikwenda, kyeki? – Enkuyege ento
44. Ani Nnamasole wa ssekabaka Mwanga II – Nnamasole Abisaaji Baagalayaze
45. Amakulu g’ekigambo entidi ng’okyesigamya ku bintu ebikozesebwa mu maka g’Omuganda – Ky’ekitanda ky’Omuganda
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K