Ennyonyi y’eggye gy’eggwanga erya UPDF ekika kya Namunkanga egudde ku kabenje n’ekwata omuliro n’ebengeya.
Abakenje kano kagudde Karugutu mu district ye Ntoroko.
Omwogezi w’ekitongole ekivunanyizibwa ku mbuuka z’ennyonyi muggye lya UPDF Maj. Nabboth Mugisha agambye nti tebanazuula kizibu kivuddeko Kabenje kano, oluvannyuma lw’okulemerera omugoba waayo netomera ennyumba y`omututuuze ku kyalo kye Nyamisigiri, nekwata omuliro yonna nebengeya.
Maj.Nabboth agambye nti abantu 2 abafudde kubaddeko omugoba w’ennyonyi eno n’omutuuze abadde mu nnyumba etomeddwa ennyonyi.
Mu kiwandiko ekifulumiziddwa egye lya UPDF kiraze nti ennyonyi eno ebadde egenda mu ggwanga lya Democratic Republic of Congo okulwanyisa abayeekera ba ADF.
Wassiddwawo akakiiko akenjawulo okunonyereza ekiviiriddeeko ennyonyi eno okufuna akabenje.#