Alipoota ekwata ku nkola ya parish development model eraze nti entekateeka eno esinze kwenyigiramu bannabyabufuzi naddala ab’ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM, ekiyinza okuviiriddeko obutali bwenkanya mu ngabanya y’ensimbi zino, n’abantu okugiraba ng’eby’obufuzi okusinga ebyenkulakulana.
Ba kansala b’ebitundu abatuuka obutereevu ku bantu, tebamanyi nteekateeka ya nkola eno.
Okunoonyereza kuno nga kukoleddwa ekitongole ki Community Integrated Development Initiative CIDI Uganda,kulaze nti nábabaka ba parliament bennyini enteekateeka eno tebagitegeera bulungi.
Alipoota eraze nti singa enkola ya parish development model teddamu kulambikibwa, bannansi abankuseere ebitundu 63% bakusigala mu bwavu.
Amyuka ssenkulu wékitongole ki CIDI Hellen Kasujja asabye government ekole ekisoboka esobozese abakulembeze ku buli mutendera okwenyigira mu nteekateeka zaayo, kiyambeko mu kukendeeza ku nsimbi ezifiira mu buvuyo.
Hellen Kasujja abadde yeetabye mu musomo ogwokubangula bakansala ku ngeri yÓkutumbula obuweereza mu bantu bebakulembera,okubadde e Nakawa.
Omubaka wa parliament owa Nakawa East Nsubuga Ronald Balimweezo agambye nti waliwo obutali bwenkanya bungi mu ngabanya yénsimbi mu miruka egirina abantu abangi n’egirina abatono.
Agambye nti enkola y’okugiwa omutemwa gw’ensimbi ogufaanagana yandibadde ekyusibwa,ezigiwebwa okusinziira ku bungi bw’abantu bwegirina.
Mu nteekateeka eriwo,buli muluka gwakuwebwa obukadde bwa shs 17 buli mwaka, ezigenda okwewolebwa abantu bekulakulanye.
Omukubiriza wÓlukiiko lw’egombolola ye Nakawa Godfrey Luyombya asabye abavunanyizibwa ku nteekateeka eno, okwekeneenya abantu omusanvu abalondeddwa okuddukanya enkola eno ku buli muluka, muveemu bannabyaabufuzi.
Kansala Winnie Nandudu okuva mu muluka gwe Naggulu era nga munna NRM ,agambye ekituufu tebabangulwanga ku ntekateeka ya Parish Development model, era nga nabyo byebabuulira abantu bawulira biwulire.
Bisakiddwa: Kato Denis