Abakulembeze ku mitendera egyenjawulo bakubiriziddwa okuzaawo enkola ey’okufa ku bantu bebaweereza bonna, bewale okweyagaliza buli kantu.
Msgr Charles Kasibante abyogeredde ku klezia ya Our lady Of sorrow Nabitalo Kiwenda, mu missa y’okusabira Eng.Robert Hubert Kibuuka omu ku baatandika CBS radio.
Msgr Kasibante avumiridde enkola ya naasiwa mu kange emaamidde abakulembeze ku mitendera egyenjawulo, eviiriddeko abantu babulijjo obutatuusibwako mpeereza esaanidde.
Avumiridde ebikolwa ebyekko, obutaagaliza n’ebirala ebimaamidde ensi, nti bivudde ku nkuza y’abaana etasaanidde.
“bwotunuulira abakola byebakola kati mu ggwanga lino, newebuuza baakuzibwa batya era ensi etagawa?. Abasiindiikiriza abantu ku ttaka, Abasaayira banabwe emmere n’ebirala ebiringa ebyo tebirema kutwennyamiza”- msgr Charles Kasibante.
Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek.Robert Waggwa Nsibirwa.
Nalinnya Lubuga Agnes Nabaloga ne Nalinnya Sarah Kagere nabo betabye mu kusaba kuno.
Eng.Robert Hubert Kibuuka wakuziikibwa ku biggya byabajajja be e Nabitalo Kiwenda.#