Okulwanagama okw’amaanyi kusitudde buto enkundi mu bitundu bye Acholi, wakati wa Bacholi nába Madi abalwanira ettaka erya Apaa.
Abantu abasinga badduse mu maka gabwe nebadduira mu bubuga ewali ewakalembereza, nga batya nti ennyumba zabwe ezaazimbibwa n’essubi zandiddamu nezikumwako omuliro.
Ettaka eribakaayanya liwezaako square kilometers 2.
Kigambibwa nti waliwo ekibinja kyábantu abasoba mu 100 abaabadde babagalidde emiggo, obusaale nébissi ebirala abateeberezebwa okuba Abamadi, abaavudde mu District ye Adjumani nti kyekyalumbye abantu abalala ku ttaka lye Apaa nebabalagira okulyamuka bunnambiro.
Abakulembeze mu Acholi bategezezza nti okulwanagana kuno kuzeemu oluvanyuma lweyali ssentebe wólukiiko olwatekebwawo omukulembeze we ggwanga okutabaganya enjuyi zombi, Jacob Lokori Oulanyah okufa nga kati tewakyali kuwuliziganya.
Omubaka wa parliament owa Kirak South Gilbert Oulanyah ategezezza nti okutya kweyongedde mu bitundu bye Apaa nti kubanga nábakuuma ddembe mu kitundu kino embeera ebayinze kubanga abantu bano balina ebissi ebyabuli kika.
Oulanya era ategezezza nti ensonga endala esiikudde emitima gy’abantu, byebigambibwa nti government erina enteekateeka egenderera okuwaayo ettaka lino eri musiga nsimbi okuva mu South Africa,sso ng’ekimanyi bulungi nti kuliko abantu abaliwangaaliriako.
Wabula Minister we nsonga zómunda mu gwa Severino Kahinda Otafire ategezezza nti abamu ku bakulembeze mu bitundu bino balemereddwa okukola omulimu gwabwe okukkakanya abantu mu ngeri eyémirembe.
Enkayana z’ettaka mu bitundu by’e Apaa zizze zisajjuka okuva mu 2012,wakati w’enjuuyi ez’enjawulo.
Mu 2012 olutalo lwali lwamaanyi ekitongole kya Uganda Wildlife Authority,bwekyali kisengula abantu abagambibwa nti besenza ku ttaka eryali lyatalizibwa okubeera ekkuumiro ly’ebisolo.