Abantu ba Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, bamweyanzizza olwa kaweefube gwatadde mu kukulaakulanya abantu be, ng’ayita mu kubalambika ku nsonga z’enkulaakulana omuli Ebyobulamu, Obwegassi n’Okutumbula ebyenjigiriza, ekiwadde abantube essuubi ly’okudda ku ntikko.
Katikkiro mu bubaka bwe eri abantu ba Kabaka mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja age 69 e Najjananjumbi ku kkanisa y’Abadivent , agambye nti Beene okuweza emyaka 69 kabonero akalaga nti Buganda erinako wetuuse mu nkola y’emirimu, ekyongedde okuwa Obwakabaka essuubi.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’Okukozesa ebiseera byonna ebyobulamubwe okuteeka ku bbali Okusomooza kwonna naalamula Obuganda.
Ssabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi Dr. Moses Maka Ndimukika nga ayita mu ssaala eyenjawulo eri Ssabasajja, yeebazizza Omutonzi olw’obulamu bw’Omutanda obw’Ebibala ate obujjudde ekisa eri abantu be.
Omulabirizi wa Central Uganda Conference Samuel Kajoba nga yaakulembeddemu okubuulira, asabye abantu b’Omuteregga obutakoowa kuteeka mu nkola biragiro bye, okwongera okweyagalira mu Buganda era esanyusa.
Okusaba kuno kwetabiddwako Abalangira n’Abambejja, ba Nnaalinnya, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, ba Jjajja abataka abakulu b’Obusolya, Katikkiro eyawummula Owek Joseph Mulwaanyammuli Ssemogerere, bannaddiini okuva mu nsikiriza zonna.
Ba minister ba saabasajja Kabaka bonna babadewo, abaami b’Amasaza , minister wa Kampala Minsa Kabanda, minister w’ettaka Judith Nnabakooba.
Bisakiddwa: Kato Denis