Emikolo gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda age 68 gayinda.
Ssaabasajja Kabaka ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku ssaawa mukaaga ezoomuttuntu.
Emikolo giri mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo
Gyetabiddwako ab’ebitiibwa, abambejja n’abalangira, n’abantu abalala bangi.
Ab’enzikiriza y’abadvent bebakulembeddemu okusaba n’okutendereza olw’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka.
Ssaabalabirizi wa Adventist Church Pr.Dr.Moses Maka Ndimukika asabidde Omutanda n’Obuganda bwonna.
Omuteregga Nnyinimu Ssaabalongo yazaalibwa nga 13.April,1955.#