Akakiiko k’eggwanga akalwanyisa okusaasaana kw’akawuka ka mukenenya mu ggwanga ka Uganda Aids Commisson kategeezezza nti omwezi gwa Feruary 2025, bannauganda abalina akawuka ka mukennenya bakutandika okuweebwa obujanjabi bw’eddagala erikubibwa mu mpiso, mu kifo ky’okubeera ku mpeke zokka ezibadde zibaweebwa.
Empiso eno eyitibwa LA -Cabotegravir yamaze dda okwekebeggyebwa ekitongole ky’eby’eddagala mu ggwanga ekya Uganda National Drug Authority, ekubibwa omuntu alina obulwadde bwa siriimu buli luvannyuma lwa myezi ebiri, okuweweeza ku kawuka.
Doozi 35,000 zezisuubirwa okuleetebwa mu Uganda omwezi gwa February 2025 wegunaatuukira.
Avunanyizibwa ku kubunyisa ebikwata ku mukenenya mu Uganda Aids commission Dr. Vincent Bagambe, agambye nti waliwo n’empiso endala eweweeza akawuka ka siriimu, ekubibwa buli luvannyuma lwa myezi 6 eyitibwa Lenacapavir, nayo balindiridde kitongole kya NDA okugyekebejja era bagitongoze, olwo eryoke etandike okukozesebwa mu Uganda.
Agambye nti nga bakozesa technology omuggya ow’okumanya ekiseera ekituufu omuntu kyeyakamala ne siriimu, bangi basobodde okuyambibwa nebaweebwa eddagala nga bukyali.
Abakungu ba Uganda Aids commission nga bakulembeddwamu Ruth Ssennyonyi, ssentebe w’ekitongole kino, babadde mu kakiiko ka parliament akalondoola enteekateeka z’okulwanyisa mukenenya n’endwadde enkambwe mu Uganda, nebategeeza nti bingi ebyongedde okunoonyerezebwako ebisuubirwa okwongera okukendeeza okusaasaana kwa siriimu, wabula bitambula kasoobo olw’obutaba na nsimbi zimala.
Dr Stephen Watiti, memba ku lukiiko lwa Uganda Aids commission ategeezezza nti government ya Uganda esaanye eteeke ensimbi eziwera mu kaweefube w’okulwanyisa akawuka, nti kubanga ensimbi zebakozesa mu kiseera kino zisiinga kuva mu bagabi b’obuyambi, naddala okusomesa abavubuka enkozesa n’emigaso gy’okukozesa obupiira, ng’emu ku nkola ezokutaangira okusaasaana kw’akawuka ka mukenenya.
Dr Watiti agambye nti embeera eno ereetawo okusoomozebwa mu kitongole kya Uganda Aids Commission kubanga kibeera kizibu okuteekerateekera enkola eno, kubanga ebiseera ebisinga babeera tebamanyi bagabirizi b’obuyambi ensimbi zebabeera banaabawa, okusomesa n’okuwa bannansi obupiira bukalimpitawa, okwekebeza n’okutangira akawuka okwengeri zonna.
Ssentebe w’akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku nsonga za mukenenya Kisa Stephen agambye nti ensonga eno esaanye okussibwa ku mwanjo, era n’ategeeza nti bagenda kutuukirira ministry y’ebyensimbi, ey’ebyobulamu n’abalala basisinkane omukulembeze w’eggwanga basalire wamu amagezi.